Wabaddewo obunkenke nga amyuka omukulembeze w’ekibiina ki National Unity Platform mu Buganda, Muhammad Muwanga Kivumbi ng’akomezebwawo mu kooti ne banne abalala 24, era enguudo ezimu e Butambala zigaddwa ab’ebyokwerinda nga babadde tebakkiriza bantu kotuuka ku kooti
Muwanga kivumbi aletedwa n’abasibe abalala bwebaggulwako emisango gy’obutujju.
Muwanga kivumbi bwatuusidwa mu kooti n’abasibe abalala ,banna mateeka be nga bakulembedwamu Medard Lubega Ssegona bategezezza omulamuzi nti mubamu ku bantu abavunaanibwa ne Muwanga Kivumbi mulimu abaana abato abatanaweza myaka 18.m ate nga basibwa n’abantu abakulu.
Munnamateeka Medard Lubega Ssegona era ategezezza omulamuzi nti n’obunkenke obutekebwawo ng’abasibe baleetebwa mu kooti tebwetagisa, so nga nookugaana abantu okugenda okuwulira omusango guno kikyamu.
Oluvanyuma omulamuzi Deogratious Ssejjemba alagide ekitongole ky’amakomera kyekeneenye ensonga y’abasibe abagambibwa okuba nga tebaweza myaka 18 egy’obukulu, nga kigambibwa bakina emyaka 17 era nga babadde bayizi b’amasomero.
Omulamuzi azzeemu okubasindika mu nkomyo okutuusa nga 31 Maarch,2026 lwebanakomezebwaawo mu kooti ensonga eno ewebweko ensala.
Abavunaanibwa kigambibwa nti benyigira mu bikolwa eby’ebyekitujju n’rkigendererwa ekyali eky’okutabangula okulonda, ku kalulu k’okulonda president n’ababaka ba parliament ya Uganda akaakubwa nga 15 January,2026.
Abantu 7 bebaaluvulamu obulamu n’abalala nebalumizibwa, ab’ebyokwerinda bwebaalumba ewaka w’omubaka Muwanga Kivumbi ewagambibwa nti gyebaalukira olukwe lw’okukola ebikolwa eby’obutujju.#











