Police ekutte Omubaka wa parliament akiikirira Butambala mu parliament ey’e 11, Muhammed Muwanga Kivumbi okubaako byannyonyola ku busambattuko obwali mu maka ge e Butambala obwafiiramu abantu 7 n’abalala nebasigala n’ebisago eby’amaanyi.
Bino byaliwo mu kulonda ababaka ba Parliament ne President nga 15 January,2026.
MunnaNUP Muwanga Kivumbi yawangulwa Erias Mukiibi eyesimbawo obwannamunigina.
Kigambibwa nti mu kitundu kino amasasi n’emiggo byetobeka mu kulonda kuno, era gyebyagwera ng’abantu 7 bakubiddwa amaasasi nebattibwa.
Embeera eno ne president Gen. Yoweri Kaguta Museveni yagyogerako bweyali ayogerako eri bannamawulire mu maka ge e Rwakitula, ku ngeri akalulu gyekaatambulamu.
President yategeeza nti abantu abattibwa baalina ejjambiya n’ebissi ebirala, n’ekigendererwa eky’okuleetawo obutabanguko mu kulonda n’okutta abantu.
Omwogezi wa police Rusoke Kituuma agambye nti Muwanga Kivumbi agenda kuggulwako emisango egyenjawulo, era nga balinze kulambikibwa Ssaabawaabi wa government.










