Olukungaana lw’amawanga ga Africa olukwata ku kampuni ezivunaanyizibwa ku mbuuka z’ennyonyi mu Africa, olwatuumiddwa AFRAA General Assembly, lutandise ku speak Resort e Munyonyo, ng’essira liteekeddwa kukubiriza abakyala okwongera okwenyigira mu mirimu ejikwata ku mbuuka z’ennyonyi.
Olukungaana luno olw’omulundi ogwa 55, lutegekeddwa kampuni ezivunanyizibwa ku mbuuka zennyonyi mu Uganda eya Uganda Airlines, ngabakungu abasoba mu 500 okuva mu mawanga ga Africa bebazze okulwetabamu.
Olukungaana lwa AFRAA olw’omulundi ogwa 55 lwakumala ennaku 2 ng’abakugu mu by’ennyonyi bakubaganya ebirowoozo ku ngeri z’okutumbula entambula z’ennyonyi mu mawanga ga Africa, okukolera awamu mu katale k’ennyonyi, nokuwagira abakyala okwenyigira mu business eno.
Jennifer Bamuturaki ssenkulu wa kampuni ya Uganda Airlines era nga ye president woomukago ogwa AFRAA ow’omwaka 2023, mukwogera ne Cbs agambye nti olukungaana luno era gwakwongera okuteesa ku ngeri z’okuteekesa mu nkola amateeka agenjawulo agaleetebwa mu katale kentambula z’ennyonyi.#