Abagoberezi ba Yezu Kristu ku mitendera egyenjawulo batambuzza ekkubo ly’omusaalaba munsi yonna, nga bajjukira olunaku lweyabonyaabonyezebwa ku mirembe gya Ponsio Piraato, n’akomererwa ku musaalaba ku lusozi e Gologooth.

Bwanamukulu wa Ekrezia ya st Jude Catholic Parish e Wakiso Rev Fr. Ronnie Mubiru agambye nti ekkubo ly’omusaalaba kabonero ak’okwefuumitiriza n’okujjukira Yezu Kristu byeyayitamu atuuke okukomererwa ku musaalaba n’attibwa ng’asibiddwako omuge gw’amaggwa ku mutwe, wakati mu kwewaayo afiiririre abantu.



Fr.Mubiru agamba nti mu kiseera kino ng’abantu bakola ebikolobero ku bannabwe, enguzi n’obulyake nga bigenda mu maaso mu Uganda, asabye abakkiriza okwefumiitiriza ku lunaku luno, kabeere akabonero eri abantu ok’okukomya okunyigiriza n’okutulugunya bannaabwe.
Okutambuza ekkubo ly’omusaalaba kwetabiddwamu abantu ab’enjawulo, abato n’abakadde.

