Katikkiro wa Buganda Munnamateeka Charles Peter Mayiga atenderezza Omumbejja Nnaalinnya Gertrude Tebattagwabwe Ssempala, olw’emirimu egy’enkizo gyekoledde Obuganda.
Katikkiro Omugenzi Amwogedde ng`omuntu abadde owenkizo mu Bwakabaka bwa Buganda, era eyebuzibwako ebyensonga.
Bibadde mu babaka bwe obumusomeddwa omumyuka we asooka Owek Al Hajji Professor Twaha Kawaase Kigongo, Ku mukola ogw`okusabira Nnaalinya Gertrude Tebattagwabwe Ssempala mu Lutikko e Namirembe.

Ssabalangira Godfrey Musanje yeebaziiza Nnalinya Gertrude Tebattagwabwe Ssempala, olw`obutabaswaza ng`olulyo olulangira wabula nakola ebyo ebyongera okuyimusa ekitiibwa kyabwe.
Omulangira Daudi Mawanda Namugala Omukulu w’ennyumba y`Omulangira George William Mawanda e Salaama, Nnaalinnya amwogedde ng`omuntu abadde nebitone ebyenjawulo era byakozesezza obulungi.

Alosius Matovu Jjaja w`Olulyo Olulangira, asabye bazukulu ba Buganda okwongera okwagala Obuganda nga Nnaalinnya bwabadde.
Katikkiro w’ekika kye Ffumbe nga yayogedde Ku lwaba Taata n’ekika kye Ffumbe, Ssebagala Kigozi Joe, agambye nti Nnalinya Okuva lweyaliraana ekika kyabwe, abadde yafukiira ddala mpagi luwaga mu fumbe.

Ba Ssaava neba Nnaava, nyabwe bamutendereeza olwengeri ennungi gyabakuzizaamu, era nebeebaaza bonna abababereddewo mu Kaseera Kano akajudde okusoomozebwa n`okugezesebwa.

Omulabirizi Omubeezi owa Kampala eyawummula Bishop Hannington Mutebi

Omulabirizi Omubeezi Owa Kampala eyawummula Bishop Hannington Mutebi,yaakulembedde okusabira omugenzi, awamu n’Omulabirizi we Namirembe Kitaffe mu Katonda Moses Banja, asinzidde mu kusaba kunno nasasiira Obwakabaka.

Okusaba kuno kwetabiddwako Nnabagereka Sylivia Nagginda, Abalangira n’abambejja, Bannaalinnya, Jjaja w`Obusiramu Omulangira Dr. Kassim Nakibinge Kakungulu, Bakatikkiro abaawummula, neba Minister okuva mu Bwakabaka bwa Buganda, Ssaava neba Nnaava.

Nnaalinnya Gertrude Tebattagwabwe yafiiridde ku myaka 80 egy’obukulu, nga gyaweredde ddala ku lunaku lweyazaalibwa nga 05 May,1945.
Agenda kuterekebwa e Wakiso mu Busiro.
Bisakiddwa: Musisi John