Kamalabyonna wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga atenderezza obuvumu n’obumalirivu omugenzi Eng.Hubert Robert Kibuuka, bweyayolesa ng’alwana okutaasa ekitiibwa kya Buganda.
Katikkiro bino abyogeredde mu Eklezia ya Christ the King Church mu Kampala, mu kitambiro kya Missa eyokusabira omwoyo gwomugenzi Eng Hubert Robert Kibuuka.
Katikkiro ategeezezza nti Eng Kibuuka yakola obuteebalira ng’aweereza Obuganda, era obulamu bwe bubadde bwa bibala ebiweesa ensi n’eggwanga lye ekitiibwa, era Ssabasajja yamusiima ne Jinja ery’omuwendo.
Eng.Kibuuka yali musaale mu kutandikawo CBS n’ebitongole ebirala eby’obwakabaka okuli BUCADEF, BICUL n’ebirala.
Ssenkulu w’olukiiko olukulembera Radio CBS omukungu Mathias Katamba, yebazizza omutonzi olw’ekirabo ekyobulamu n’amagezi byeyawa Eng Kibuuka ate namusobozesa okubigabanyizaako abalala.
Owek Joyce Juliet Nabossa Ssebugwaawo amwogeddeko nga abadde ayagala enyo Kabakawe ate ne kikaakye eky’Endiga.
Eyaliko minisita wa Works Hon John Nasasira, kulwa ba Engineer ayogedde ku mugenzi nga abadde omukugu mu kyakola era akoleredde ennyo okuzimba ensiye.
Msgr Kalumba nga Vicar General nnamba 2 owe ssaza ekkulu erye Kampala era bwanamukulu we kigo kino ekya Christ the King mu Kampala, ategeezezza nti eggwanga lifiiriddwa omukugu era nategeeza nti okuvaawo kwe Ddibu ddene eri eklezia Katolika.
Abaana b’omugenzi nga bakulembedwaamu Cyrus Kibuuka bebazizza abakungubazi nabantu bonna abababeereddewo nategeeza nti kitaabwe abadde musomesa wabwe mulungi ddala.
Eng.Kibuuka wakuziikibwa e Nabitalo Kiwenda nga 22 September,2023.
Bisakiddwa: Kibuuka Fred