Jajja wo’busiiramu Omulangira Dr.Kassimu Nakibinge Kakungulu avumiridde ebikolwa eby’efugyo ebyalabikira mu kalulu kwokujjuza ekifo ky’omubaka wa Kawempe North,ekyawangulwa Erias Luyimbazi Nalukoola,nasaba ab’ebyokwerinda beddeko.
Omulangira agambye nti okukuba abantu emiggo, aaya ne birala nga ne banamawulire tebataliziddwa, kyali tekyetagisa nasaba abalina obuyinza okugamba ku bakuuma ddembe ababyenyigiramu n’okubavunaana bavunaanibwe.

Omulangira abyogeredde mu kusaala Eid Al-fitir ku muzikiti e Kibuli.
Asabye abavubuka nti ng’eggwanga lyolekera okulonda kwa bonna mu mwaka 2026 bakuume emirembe,ne banamawulire nabawa amagezi nti tewali ggulire lisinga bulamu bwabwe, era bwebalaba embeera etabuuse betegule.

Omumyuka asooka owa Katikkiro wa Bugabda Owek. Dr Prof. Twaha Kawaase Kigongo asabye abantu ba Kabaka okwefumiitiriza ku bubaka Ssabasajja bweyawadde,mu bubaka bwe obwa Eid.

Mu ngeri yeemu Owek. Kawaase yebazizza Katonda olw’obulamu bwa Ssaabasajja Kabaka olwo kuweza emyaka 70, nsaba abantu okwetaba bungi mu misinde gy’amazaalibwe ge egigenda okubeerawo nga 6 omwezi ogujja ogw april.

Supreme Mufti wa Uganda Sheik Shaban Muhammed Galabuzi alaze obutali bumativu olw’enteekateeka government gyerina okutwala ssente ezisasulibwa amasomero mu kitongole kya Uganda Revenue Authority.
Agambye nti enteekateeka eno yakwongera okukosa enzirukanya y’amasomero, nga kwotwalidde n’okukosa abayizi olw’okulwawo okutuusibwako ebyetaagisa.
Supreme Mufti asabye abavunanyizibwa kukuteekerateekera eggwanga lino okukola omulimu gwabwe obulungi kitaase ku bantu abafiira mu mataba buli enkuba lwetonnya.

Akulembeddemu okusaza Eid Al-fitir e Kibuli Sheik Yasin Kiweewa asabye abakulembeze okufaayo eri abantu be bakulembera, ne yenyamira olwebikolwa ebityobola eddembe lyobuntu ebyeyongedde mu ggwanga.

Minister wa Kampala Hajjat Minsa Kabanda alagidde loodi meeya wa Kampala ne sipiika wa KCCA,okuyita olukiiko olwamangu okusalira embeera y’amataba mu Kampala amagezi, era avumiridde n’embeera eyali mu kalulu ke Kawempe.
Lord Mayor wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago agambye nti baakola dda enteekateeka namutayiika ey’okulwanyisa amataba mu Kampala, wabuma tebawaanga nsimbi.

Omumyuka w’omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Owek.Ahmed Lwasa,
Omubaka wa Kawempe North omuggya munanateeka Elias Luyimbazi Nalukoola, owa Kira municipal Ibrahim Ssemujju Nganda, omuloodi , bebamu ku betabye mukusala Eid Al-fitir enno e Kibuli.#