Abagoberezi ba Kristu mu nsi yonna batandise wiiki Entukuvu nga balindirira amazuukira ga Yezu Kristu, era banyeenyezza amatabi okujjukira Yezu Kristu lweyayingira ekibuga ekikulu Yerusalemu mu kitiibwa.
Olunaku luno olw’amatabi oba olw’e Sunday entukuvu, lwe lumu ku nnaku ezisiinga okujjumbirwa abakkiriza, era amasinzizo agasiinga obungi gajjuza.
Ku lutikko e Lubaga ekitambiro kya missa kikulembeddwamu Rev. Fr. Achilles Mayanja Ssali, nalabula abantu abenyigira mu bikolwa ebyekko n’okulumya abalala okweyambisa amazuukira ga Yezu Kristu eyafiiririra ensi eno olw’ebibi by’abantu, bekube mu kifuba babikomye.#










