• Latest
  • Trending
  • All

Okujaguza Amatikkirwa ga Kabaka Mutebi aga 32 ku muzikiti e Kibuli

August 1, 2025

Katikkiro Mayiga akubirizza abaami ba Kabaka okwettanira Tekinologiya ow’omulembe mu nkola y’emirimu

February 17, 2026
Omwana afiiridde mu muliro ogukutte ennyumba e Namugongo – gusanyizaawo n’ebyamaguzi

Omwana afiiridde mu muliro ogukutte ennyumba e Namugongo – gusanyizaawo n’ebyamaguzi

February 17, 2026
Abantu 4 bafiiridde mu kabenje akagudde e Kyazanga – lukululana ebasaabadde

Abantu 4 bafiiridde mu kabenje akagudde e Kyazanga – lukululana ebasaabadde

February 17, 2026
Emyaka 49 bukyanga Ssaabalabirizi Janan Luwum attibwa – president Museveni ayambalidde abakulembeze abatta abantu nti babeera batiitiizi

Emyaka 49 bukyanga Ssaabalabirizi Janan Luwum attibwa – president Museveni ayambalidde abakulembeze abatta abantu nti babeera batiitiizi

February 16, 2026
Police ekutte abantu 5 abateeberezebwa okubbisa emmundu – kigambibwa beebatta eyali ekulira police e Ntaawo Mukono

Police eyigga Taata agambibwa okutta omuvubuka gw’asanze ne muwala we ku lunaku lw’abagalana e Matugga

February 16, 2026

Abatendesi ba KCCA FC baweereddwa nsalesale wa mipiira 3 – bwegibalema okuwangula boolekedde okugobwa

February 16, 2026
Okujjukira Ssaabalabirizi Janaan Luwum – ekkanisa ya Uganda ekakasizza nti yafunye ekyapa ku ttaka kweyaziikibwa

Okujjukira Ssaabalabirizi Janaan Luwum – ekkanisa ya Uganda ekakasizza nti yafunye ekyapa ku ttaka kweyaziikibwa

February 16, 2026
Omutindo gw’abayizi abasomesebwa mu nsoma empya gwakwongera okulinnya – abayita ebigezo bya UNEB aba S.4 beyongeddeko obungi

Omutindo gw’abayizi abasomesebwa mu nsoma empya gwakwongera okulinnya – abayita ebigezo bya UNEB aba S.4 beyongeddeko obungi

February 14, 2026
Katikkiro alabudde abalowooza nti omukwano nsimbi – abadde ku mukolo gw’omwami Andrew Francis Luyombo n’omuk.Solomy Nassejje nga bajaguza emyaka 25 mu bufumbo obutukuvu

Katikkiro alabudde abalowooza nti omukwano nsimbi – abadde ku mukolo gw’omwami Andrew Francis Luyombo n’omuk.Solomy Nassejje nga bajaguza emyaka 25 mu bufumbo obutukuvu

February 14, 2026
Abayizi ebitundu 99.7% baayise ebigezo bya S.4 ebya UNEB 2025

Abayizi ebitundu 99.7% baayise ebigezo bya S.4 ebya UNEB 2025

February 13, 2026
Obwakabaka bwa Buganda buwaddeyo ebirabo eri ebitongole byabwo ebyasiinga okukola obulungi emirimu mu 2025 – CBS eweereddwa ekirabo ekisukkulumye

Obwakabaka bwa Buganda buwaddeyo ebirabo eri ebitongole byabwo ebyasiinga okukola obulungi emirimu mu 2025 – CBS eweereddwa ekirabo ekisukkulumye

February 12, 2026

Okusunsula abayizi abagenda okusoma S.1 kutandise – minister Muyingo alabudde amasomero agatunda ebifo

February 12, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Okujaguza Amatikkirwa ga Kabaka Mutebi aga 32 ku muzikiti e Kibuli

by Namubiru Juliet
August 1, 2025
in BUGANDA
0 0
0
0
SHARES
149
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Abantu ba Ssaabasajja Kabaka bakuηηaanidde ku muzikiti e Kibuli, okujjukira bwejiweze emyaka 32 bukyanga attikkirwa e Naggalabi Buddo.

Ssaabasajja Kabaka aweerezza obubaka obuzanyiddwa ku katambi n’okulagibwa ku ntimbe za TV.

Empologoma ya Buganda yebazizza Mikwano gya Buganda mu Uganda ne mu nsi endala, abawagidde emirimu gy’Obwakabaka.

 

Omuteregga agambye nti Akaseera ketuyingidde ak’ebyobufuzi gwe gumu ku miwaatwa eminene abalabe ba Buganda mwebatera okuyitira, naasaba abantu be babeere bagumu era abantu ab’engeri eyo babeekengere.

“Tubasaba, nga bulijjo munyiikire okwekolera mmwe mwennyini okusinga okukaabirira n’okulindirira ababaggya ku mulamwa nga babawa obunyeebwa”

 

 

Okusaala kukulembeddwamu Supreme Mufti Muhammad Shaban Ggalabuzi.

Sheik Yasin Abbas Kiweewa abadde omubuulizi ow’enjawulo ku matikkira ga Kabaka aga 32

Sheik Yasin Abbas Kiweewa mu kubuulira kwe, agambye nti amatikkira ga Kabaka kabonero akawa essuubi eri abantu ba Buganda ne Uganda yonna okutwaliza awamu.

Agambye nti Allah y’alonda abantu abesoonga era naabasukkulumya ku balala.

Sheik Kiweewa agambye nti abantu abangi abeyiye e Kibuli okujaguza emyaka 32, kabonero akalaga nti abantu basiimu eri Obuganda, era basaanye batwale ebikolwa ebirungi mu maaso.

Omulangira David Kintu Wasajja, Omulangira Richard Ssemakookiro, n’omumbejja Gertrude Nnaabanakulya

 

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti ebisomooza bibadde bingi mu myaka gino 32, naye nazaamu obuganda essuubi nti wadde bingi ebibaddewo,  eky’omukisa ekisiinga Kabaka waali.

“Waliwo abaagala tukwate ku ttama, tuggwemu amaanyi tuyenjebuka, naye byonna tujja kubivuunuka.

Tunywerere ku Kabaka waffe Namunswa, era njagala okubakakasa tujjakuba bawanguzi” Katikkiro Charles Peter Mayiga

 

Abakongozzi abava mu Ssiga lya Ssekayiba e Ssenge mu kika ky’Embogo , ku mukolo gw’amatikkira ga Kabaka aga 32 ku muzikiti e Kibuli

Jajja w’Obusiraamu Omulangira Kassim Nakibinge yebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’enkolagana eriwo wakati w’Obwakabaka n’obukulembeze bw’Obusiraamu e Kibuli, nagamba nti wadde nga waaliwo abaali bagala buveewo, nti naye Ssaabasajja yabatebuka.

Akubirizza abantu bonna mu Uganda okujjumbira okulonda mu kalulu ka bonna akajja aka 2026, ate era balonde abantu abalina embavu abanaasobola okukulembera eggwanga obulungi.

Omulangira Nakibinge era akubirizza abantu abalina ebisaanyizo n’ensa besimbewo ku bifo byonna, baleme kuleka bantu bakiboggwe kubakulembera.

Abamu ku ba district Khadi abetabye ku mukolo gw’Amatikkira ga Kabaka aga 32 ku muzikiti e Kibuli
Abaaliko ba Katikkiro ba Buganda, okuli Owek. Mulwanyammuli Ssemogerere, Owek.Dan Muliika n’Owek. J.B Walusimbi
Abamu ku ba Bishop abetabye ku matikkira ga Kabaka ku muzikiti e Kibuli
Katikkiro Charles Peter Mayiga ng’alamusa ku president wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu
ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Katikkiro Mayiga akubirizza abaami ba Kabaka okwettanira Tekinologiya ow’omulembe mu nkola y’emirimu
  • Omwana afiiridde mu muliro ogukutte ennyumba e Namugongo – gusanyizaawo n’ebyamaguzi
  • Abantu 4 bafiiridde mu kabenje akagudde e Kyazanga – lukululana ebasaabadde
  • Emyaka 49 bukyanga Ssaabalabirizi Janan Luwum attibwa – president Museveni ayambalidde abakulembeze abatta abantu nti babeera batiitiizi
  • Police eyigga Taata agambibwa okutta omuvubuka gw’asanze ne muwala we ku lunaku lw’abagalana e Matugga

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist