Bya Mugerwa Charles
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga awaddeyo obubaka bwa Buganda obukungubagira abadde sipiika wa parliament Jacob Oulanyah,mu nteekateeka eyakoleddwa ey’okukungubagira omugenzi ku parliament.
Katikkiro atambudde ne minister w’obwakabaka avunanyizibwa ku by’okwerinda, obuwangwa nennono Owek Kyewalabye Male, Minister w’ettaka, Obulimi, Obutonde bwensi eby’obusuubuzi ne bulungi bwansi Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo , Omumyuka w’omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Owek Ahmed Lwasa n’omukungu David Ntege avunanyizibwa ku byabagenyi nebyekikungu mu Bwakabaka.
Katikkiro awandiise obubaka bw’okukungubagira omugenzi, mu kitabo ekyenjawulo ekyateereddwa ku parliament.
Ayogedde ku mugenzi ng’omuntu alese omukululo mu byonna byazze akola, era abadde ayagala ennyo byakola.
Amwogeddeko ng’omuntu abadde assa ekitiibwa mu bantu bonna naabo baabadde takaanya nabo.
Sipiika wa palament Anita Among yebazizza Katikkiro n’obwakabaka olwomutima gw’obwasseruganda n’omukwano obwakabaka gwebulina ku bantu abava ebweru wa Buganda.
Yeyamye nti obukulembeze bwa parliament obupya, bugenda kusoosoowaza nnyo ensonga z’obwakabaka okuli n’ensimbi zebubanja government eyawakati.
Sipiika Anita Among agambye nti wakwogera ne ssaabawolereza wa government ku nsonga zino, era mu nnaku ntono nnyo wakutegeeza Katikkiro ekinaaba kivuddeyo.
Katikkiro bwavudde eyo akyaddeko mu wofiisi y’akulira oludda oluvuganya government mu parliament Owek.Mathius Mpuuga Nsamba.
Katikkiro asisinkanyemu ababaka ba parliament abava mu Buganda nga bakulembeddwamu ssentebe wabwe, era omubaka wa Butambala Mohammed Muwanga Kivumbi.
Oluvanyuma Katikiro n’ababaka bano bogeddeko eri abamawulire, era Kattikiro Charles Peter Mayiga naabajjukiza nti mu byebakola byonna bajjukire nti Kabaka yekittaffe.
Abasabye okusoosoowaza ensonga ssemassonga ezobwakabaka n’obuteerabira kukiika mbuga bwebaba bafunyeewo akadde.
Akulira oludda oluvuganya gavument mu palament Owek Mathias Mpuga Nsamba naye yebazizza Obwakabaka, olwokubalambulako mu kiseera kino ekyokusoomozebwa parliament kyeriimu olwokufiirwa sipiika.
Ssentebbe wakabondo kababaka abava mu Buganda Mohammed Muwanga Kivumbi abuulidde Katikkiro nti ng’abakulembeze bakabondo, bagenda kukyalako embuga mu butongole babeeko ensonga zebategeeza Katikkiro.