Obwakabaka bwa Buganda busaasidde ab’enju yá Eridad Walakira eyavudde mu bulamu b w’ensi eno, nebumwebaza okukuza Obulungi Abaana bazaala nÓkugunjula Abaana bÉggwanga.
Mu bubaka obusomeddwa omukubiriza wÓlukiiko lwa Buganda Owek Patrick Luwaga Mugumbule ku lwÓmumyuuka asooka owa Katikiro Owek Dr Prof Hajji Twaha Kawaase nga asinzidde mu Maka gÓmugenzi e Buloba.
Yebazizza Omugenzi olwÓkwaagala ennyo Kabaka, nÓkubeera omuzadde atya Katonda.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga nga Mutabani mu Luggya lwa Eridad Walakira kati Omugenzi , atenderezza Omugenzi Eridad olwÓkwewa Ekitiibwa nga Omuzadde, ate nÓkwagala ennyo Abaana nÓkubabuulirira , bwebaba baliko ensobi zebakoze.
Omugenzi Eridad Walakira ye taata wa mukyala wa Katikkiro Charles Peter Mayiga, nga ye Margret Mayiga.
Omulabirizi eyawummula Owa Kampala Kitaffe mu Katonda Hannington Mutebi ,nga yaakulembeddemu okusaba kwÓkweebaza katonda olwÓbulamu obwebibala , avumiridde ebikolwa ebitali bya Buntu ebikolebwa ku bantu ensangii zino, omuli ekiwamba bantu, okutulugunya, byagambyenti ssi bikolwa bya Bwakatonda.
Fredrick Edward Makumbi ku lwÁbaana bÓmugenzi Eridad Walakira, yebazizza kitaabwe olwÓkubasomesa nebafuuka aboomugaso mu nsi eno, ate nga ayagala nnyo Ensiiye.
Bisakiddwa: Kato Denis











