N’okutuuka kati amagye, Police negye ekuuma byaalo erya LDU bakyagenda maaso nokulwanagana nabasubuzi bómukatale kewa Kisekka mu Kampala abakedde okwekalakasa nga bawakanya ekya police eyayiibwa mu kifo gyebakolera, kyebagamba nti kibalemesa okukola emirimu ggyabwe.
Mu kiseera kino obunkenke mu katale kewa Kisekka bweyongedde olwa police okweyambisa amasasi nómukka ogubalagala okugumbulula abekalakasi.
Abasubuzi bakedde kwekalakaasa bagamba nti Police buli lweyiibwa mu kitundu kyabwe ebalemesa emirimu era etiisa abaguzi okukyaama mu katale kano okugulayo ebintu.
Poliisi ekyagenda maaso okukwata abavubuka abateberezebwa okubanga bebadde bakuba abapolice amayinja nebabalumya.
Embeera eri e Wakiseka ya mukka gubalagala namasasi wabula nga abeekalakaasi betooloolamu katono nebadamu, ekiwaliriza n’amagya okwetaba mu kutebenkeza emirembe mu kitundu kino.
Emirimu mu kitundu kyewa Kisekka gikyaali gy’akasoobo olwabasuubuzi okutya okukwatibwa abakuuma ddembe.