Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga abikidde Obuganda, Nnaalinnya Gertrude Christine Nnabanaakulya Tebattagwaabwe aseeredde!.
Katikkiro asaasidde Olulyo Olulangira nÓbwakabaka okuviibwaako omuntu omukulu bwatyo.
Nnaalinnya Gertrude Christine Nnabanaakulya Tebattagwaabwe olunaku olwaleero nga 05 May,2025, era lwawezezza emyaka 80 egy’obukulu era kwafiiridde.
Katikkiro amwogeddeko ng’abadde omunyiikivu ennyo mu nsonga z’Obwakabaka.
Gutusinze nnyo Ayi Ssaabasajja twakuumye bubi!