Emmeeri ya MV Kalangala emaze omwezi omulamba nómusobyo ngéddaabirizibwa esuubirwa okuddamu okukola ku lwokusatu lwa wiiki eno nga 05 April 2023.
MV Kalangala esaabaza abasaabaze okuva e Nakiwogo okudda mu district ye Kalangala.
Ebadde yakoma okukoa nga 24 February 2023.
Mu kiseera kino abasaabaze babadde basiga kukozesa MV Natalie ne MV Nodil ezitatwala mmotoka.
Okusinziira ku captain conerly Mujwahuzi , kati balindiridde engineer okuddamu okugyekenneenya omulundi ogusembayo, abawe ebbaluwa ebakkiriza okujizza ku mazzi etandike okusaabaza abantu, naddala mu nnaku za Easter#