Museven alabudde aba ADF sibakuttirwa kuliiso.

Omukulembeze w'eggwanga Yoweri Kaguta Museven agambye nti siwakukkiriza bayeekera ba ADF okutabangula eggwanga era nalabula nti abanerema okwewaayo mu mirembe, abeby'okwerinda olunabakwata sibakubattira ku liiso.

Omukulembeze w'eggwanga Yoweri Kaguta Museven agambye nti siwakukkiriza bayeekera ba ADF okutabangula eggwanga era nalabula nti abanerema okwewaayo mu mirembe, abeby'okwerinda olunabakwata sibakubattira ku liiso.
Awadde eky'okulabirako ekya sheik Abas Muhammed Kirevu eyattiddwa ab'ekwerinda nti baludde nga bamulinnya kagere okutuusa lweyakwatiddwa mu kiro ekyakeesezza ku lwokuna lwa wiiki eno nagezaako okudduka nakubwa amasasi agaamuttiddewo.
President Museven bweyabadde ayogerako eri eggwanga mu kiro ekikeesezza leero, agambye nti aba ADF bebaatega bbomu ezasse abantu musanvu n'okulumya abalala abasoba mu 30 mu Kampala ssabbiiti eno,nga ne Sheik Kirevu y'omu ku babadde bavujjirira nokutendeka abantu abazitega nga berimbise mu ddiini.
'Bwekiba ng'okwetulisizaako bbomu kitwala omuntu mu ggulu, lwaki ababatendeka sibasooka okwetulisa'. President Museven bweyewunnyiiza.
Yagambye waliwo abantu bangi naddala abavubuka abatendekeddwa abayeekera ba ADF era nga bakyabalinnya akagere, nga nabamu bekukumye mu nsi endala nga Kenya, Tanzania, DRC, Mozambique ne Zambia.
Yakaatirizza nti ADF yafuuka bizineesi yakufunirako nsimbi ng'abagirimu bayikuula zzaabu n'okutunda embawo zebakukusa okuva mu bibira by'obuvanjuba bwa DRC. 
President Museven yannyonyodde nti sheik Kirevu y'omu mu baali mu lukwe lw'okutta minister w'ebyemirimu n'enguudo Gen.Katumba Wamala, mu bulumbaganyi omwafiira muwala we Brenda Nantongo ne dereeva we mu bitundu bye Kisota Kisaasi.

Yanyonyodde nti abayeekera ba ADF baali bagenderera kulemesa nteekateeka ya Uganda gyerina ey'okukola enguudo mu DRC ezigenderera okutumbula obusuubuzi bw'ensi zino zombi. 
Nti abayeekera bano be bamu abaali bategese okutega bbomu mu bakungubazi mu lumbe lweyali omumyuka w'omuduumizi wa Poliisi Lokech.
Ensonga bbiri president Museven zeyasimbyeko essira omuli okulwanyisa obulwadde bwa covid 19 n'okutumbula eby'okwerinda mu ggwanga naddala okulwanyisa abayeekera ba ADF.
Yagambye nti wadde nga yali ataddewo omuwendo gw'abantu obukadde 4,800,000 okuba nga bagemeddwa asobole okuggya eggwanga ku muggalo ogukyaliwo, yakyusizza yagambye nti kati buli muntu asussa emyaka 18 ateekeddwa okugemebwa, nti kubanga eddagala erigema weriri mu bungi. 
Wabula n'asuubizza nti mu mwezi gwa January siwakukyusa amasomero galina oluggulwa.