Munnamawulire omugundiivu era munnabyamizannyo Stuart Kiwanuka Mutebi aziikiddwa e Kasokoso mu Wakiso.
Stuart amaze ebbanga ng’aweereza program z’ebyemizannyo naddala omupiira ku mayengo ga Radio ez’enjawulo omuli ne CBS FM.
Abamu ku beetabye mu kuziika kuno, kubaddeko ababaka ba parliament Allan Ssewannyana naye munnabyamizannyo, Muhamad Sseggiriinya n’omubaka omukyala owa district y’e Wakiso Betty Ethel Naluyima.#