Abamegganyi Bukenya Francis eyafunye obugoba eyafunye obugoba 20 ne Kasagga Robert Kalema eyafunye 16 baasuumusiddwa okugenda mu lumeggana oluddako ate Ssaalongo Kulazikulabe Andrew ayafunye obugoba 15 yawanduse.
Biibino ebibuuzo by’entanda ya 15.11.2023.
1. Embuga ya Ssaabaganzi eweebwa linnya ki?- Buganziganzi.
2. Amatikkira ga SSaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II aga Jubireewo gaaliwo mu mwaka ki? – 2018
3. Olugero: Kyesirabanga sikyogera – .Enkuba tejjula kamoome
4. Omwezi ogujja Kabaka lwagenda okukyalira essaza lyaffe tereeza – Omwezi ogujja Kabaka lwagenda okulambula essaza lyaffe
5. Ani yawandiika ekitabo Enkuluze Y’ennono y’Omuganda? – Dr. Martin Luther Kato Mugambwa
6. Eyaliko Ssaabaminisita wa Uganda Benedicto Kiwanuka yabuzibwa mu mwaka ki? – 1972
7. Ekisoko ennyindo okuba nga y’enkata kitegeeza ki? – Okuba ng’omuntu munyiivu nnyo
8. Emimwa egy’olugali giba gyakula gitya? – Nga migazi era ng’olugali
9. Erinnya Ssaabaganzi bweryali terinnaleetebwa yayitibwanga Nakasese, lwaki? – Kubanga yagenda nga e Ssese afuneyo amagezi g’okuwangaaza mutabani wabwe
10. Waakayita emyaka emeka okuva Kabaka Ronald Mutebi lweyabikka akabugo omulundi ogwasooka? – Emyaka 54
11. Olugero: Obutamanya nnaka – bukuzza gyebaakutunda
12. Tereeza ssentensi. Okumanya omukolo gwasusse obunyuvu ne Kabaka yazinye amazina – yasambye endege
13. Ani yawandiika ekitabo Ebyafaayo n’ebifa mu Bwakabaka bwa Buganda? – Gordon Wavamunno
14. Gavumenti ya Amiini yawera ddi obwannannyini bw’ettaka mu Uganda? – 1975
15. Ennyumba okuba ng’eyamugogi e Ssenyi kitegeeza ki? – Ennyumba okuba ennene ennyo
16. Emimwa egya nnalugoba gyegiba gitya? – Giba mitono nga misongovu
17. Erinnya Ssaabaganzi lyasooka kuyitibwa ani? – Kafugankande
18. Okuva Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II lweyakuba enkanamu, waakayitawoo emyaka emeka? – 24
19. Olugero: Ddiba likaze – Ennyomo zikolonge
20. Tereeza sentensi. Twasanze Kabaka alya mmere – ALI MU BIBBO
21. Ani yawandiika ekitabo Ebisoko n’enjogera ez’amakulu amakusike? – Prof. JC Ssekamwa
22. Abayisirayiri baalumba ddi Uganda nga bayita ku kisaawe e Ntebe? – 1976
23. Ekisoko ekiwundu okusamba eddagala kitegeeza ki? – Embeera okutabuka ennyo
24. Emimwa egy’omuntu gyegitya? – Gy’emimwa eminene.
25. Mu lulimi lw’abakomazi mulimu ekigambo ekisembeeko, kye ki? – Ensawo omuterekwa ensaamu
26. Ppaapa eyasooka okujja mu Uganda yajja ddi? – 1969..
27. Ani yali ssentebe w’olukiiko omwakolerwa ssemateeka wa Buganda? – Kabaka Kintu
28. Olugero: Empisi ay’amaddu – efa kiteteme
29. Engabo Omuganda gyayita Ennyami efaanana etya? – Yeeyo gyebalukako n’enjulu
30. Tuwe embeera bbiri eziwanuuzibwa ku muti Kinene. – Gwamira Nnamalere nti yagamba nti ajja kugutomera aguyitemu n’aremererwa
31. Ab’ekika ky’Engeye bayina ennyanga yaabwe eyitibwa Nanfuka esangibwa ku kyalo ki? – Ttanda
32. Omuntu avugira akagaali ku luguudo alina kuvugira ku mukono ki? – Kkono
33. Olugero: Mulwadde tajja mutwe wansi – nga tewannajja gwayagala
34. Tuweeyo ebintu eby’ennono bibiri omuganda byeyeetaaga okuluka ekibbo – Enjulu n’obukeedo
35. Engabo omuganda gyayita ey’ensinga yeeba etya? – Erukibwako n’ebibo
36. Essaza omusangibwa ensozi Kitala ne Nsangi – Busiro..
37. Tuweeyo emigaso ebiri egiraga nti ennyanja Nnalubaale kya buwangwa eri Omuganda? – Lubaale gyasibuka, ate kweubeera empingu ya Kabaka..
38. Amagula omuganda gaayita ag’entaala gegaba gatya? – Amagulu amawanvu ennyo..
39. Tuweeyo amannya abiri ag’ebika bya kasooli omuganda? Nalwango ne Mazzi ga Yubu
40. Ekikata kyebakola mu byayi n’essanja kwebatuuza ekita ky’omwenge kiweebwa linnya ki? – Ekigamba..
41. Okugalinnya gyegava kisoko kitegeeza ki? – Okweyonoonera omukisa gwo..
42. Essubi lyebaserese ku nju bwerikaddiwa nebalijjako liweebwa linnya ki? – Obukajumbe
43. Olugero: kimanyiire bwekiba – Emmese tetomera buziizi¹
44. Nnamwandu bwajjibwa ku kifigi atwalibwa ludda wa? – Mu nsiisira ya mwannyina
45. Mu nganda zaffe mulimu gwebayita Kayobya, yaani? – Ssenga aba yakuza omwana wa mwannyina omuwala.
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K