Omukutu gw’ebyempuliziganya ogwa MTN Uganda gutongozza kaweefube w’okubbulula n’okuyamba abayimbi abakadde, nga guwagira ebivulu byebagenda okutandika okukola okwetoloola eggwanga.
Nga guyita mu nkola etuumiddwa MTN Tugende mu kikadde, abayimbi abakadongokamu bagenda kussibwamu ensimbi, nga baakutegeka ebivulu ebissiddwa mu nkola enkadde, egyayo ekitiibwa kyabwe.
Bw’abadde alangirira ekivvulu ky’abayimbi abakadde ekigenda okubaawo nga 2/12/2023 ku Serena Hotel mu Kampala, omukungu wa MTN Patrick Kalungi, agambye nti entekateeka eno egendereddwamu okujjukira ebirungi ebyakolebwa abayimbi bano, naddala mu kuyiiya ennyimba ez’amakulu.
Omuyimbi Cute Kaye omu ku bagenda okuwagirwa, yebazizza MTN okumukwasizaako, era nasuubiza okukozesa omukisa guno okubuulirira bannansi ku kabi akali mu kukozesa ebiragalalagala mu bannabitone.
Bisakiddwa: Kato Denis