Ekibiina ekiddukanya omupiira ogw’ebigere mu Uganda ekya FUFA, kyanjudde kampuni y’ebyempuliziganya eya MTN ng’abavujjirizi ab’okuntikko aba ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes.
Omukolo gw’okutongoza bannamukago bano aba MTN gubadde ku Serena Hotel mu Kampala.
MTN esuubizza okuwagira emirimu gya Uganda Cranes n’obuwumbi bwa shs 19, omumala emyaka 5.
MTN guno ekomyewo mulundi gwakubiri okuvujjirira Uganda Cranes, ng’enkolagana eyasooka yakoma mu 2013.
Emyaka 10 egiyise Uganda Cranes ebadde evujirirwa kampuni ya Airtel.
Endagaano ya Airtel yatandika nga 28 October,2013, ku nsimbi obuwumbi 3.8 okumala emyaka 4.
Nga 06 November,2017 FUFA yazza buggya endagaano ya Airtel okumala emyaka 4 ku nsimbi obuwumbi 10, era endagano eno yaweddeko mu 2021 wabula teyaziddwa buggya.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe