Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes ekiguddeko Mozambique egikubye goolo 3-1 mu mpaka ez’okusunsulamu amawanga aganaakiika mu FIFA World Cup anaberawo omwaka ogujja 2026.
Goolo ya Uganda emu bweti eteebeddwa Muhammad Shaban mu dakiika ey’omusanvu, wabula Uganda omupiira guno egumazeko nabazannyi 10 oluvanyuma lwa Dennis Omedi okufuna kaadi emyufu mu dakiika eya 38.
Omupiira guno guzannyidwa mu kisaawe kya Cairo International Stadium e Misiri.
Omutendesi wa Uganda Cranes Paul Joseph Put awaliriziddwa okukolamu enkyukakyuka mu kitundu eky’okubiri, bwafulumizza omukwasi wa goolo Ismael Watenga olw’ensobi zakoze ezirabikidde mu goolo zonna 3, nayingizamu Alionzi Nafian.
Omupiira guno Mozambique egwefuze ebitundu 53% ate Uganda Cranes ebitundu 47%, Mozambique ekubye ebizungirizi 9 mu goolo nga ebizungirizi 4 bye bibadde mu mimwa gya goolo yennyini, ate Uganda ebizungirizi ekubye 6 nga ebizungirizi 3 bye bibadde mu mimwa gya goolo.
Obuwanguzi bwa Mozambique bugitutte kuntiko y’ekibinja G n’obubonero 12, Algeria yakubiri n’obubonero 9, Botswana yakusatu n’obubonero 6, Guinea yakuna n’obubonero 6, Uganda kati yakutaano n’obubonero 6, ate nga Somalia yesembye terinaayo kabonero.
Mu kibinja kino, emipiira gigenda kuddamu okuzannyibwa, Botswana egenda kuzannya ne Algeria ate Guinea yakuzannya ne Somalia ku lw’omukaaga.
Uganda Cranes kati egenda kukomawo mu kisaawe ku Tuesday nga 25 March,2025 mu kisaawe e Namboole.
Bisakidswa: Isah Kimbugwe