Minister wa Kampala Minsa Kabanda alagidde abakulira ekitongole kya Kampala Capital City Authority okuleeta alipoota ekwata ku ngeri gyebakkirizaamu Omusuubuzi womu Kampala Hamis Kiggundu owa Ham Enterprises okuzimba ekizimbe ku mwala gwe Nakivubo, ekigambibwa nti kyekyavuddeko amataba okwanjalira mu katale ka Owino nekonoona emmaali y’abasuubuzi.
Minister Kabanda abalagidde obutasukka lunaku lwa Wednesday, nga 20 November,2024 nga baleese alipoota eyo.
Wabula Hamis Kiggundu naye atangaazizza ku by’okuzimba ku mwala gw’e Nakivubo n’agamba nti ekikolebwa ku mwala ogwo byebimu ku byateekebwateekebwa ku nsonga y’okukulaakulanya ekisaawe ky’e Nakivubo.
Okuva lwebaatandika okuzimba ku mwala guno, banna Kampala bangi ne bannabutonde bwensi, baalinnya mu Kyoto nga balumiriza omugagga Hamis Kiggundu nti kyakola kityoboola obutonde bw’ensi.
Mu kiwandiiko aba Ham Enterprises kyebafulumizza basambazze ebiyitingana nti tebaafuna lukusa lwa KCCA okuzimba, nebagamba nti abakulu mu KCCA bennyini bakkiriza Plan y’okuzimba era nebabawa ekyanya okukola omulimu guno.
“Mu mirimu gya KCCA emikulu mulimu okukakasa plan n’okulondoola ebikolebwa nga ddala tebirina tteeka lyonna lyebimenya, kale ng’okulumiriza nti omulimu gwaffe teguli mu mateeka, buba bulimba bwennyini”
Mu mbeera yeemu Ham asambazze ebigambibwa nti omulimu gwabwe gwegwavuddeko amazzi okwanjaala mu katale ka Owino ekyava ku nkuba eyafundemba ku Lwomukaaga oluyise nga 16 November,2024.
Agambye nti omwala ogwo baagubisseeko bulungi nebazimba ku ngulu, amazzi negasigaza wegayita mu mwala wansi.
Kiggundu agambye nti mwetegefu okwogera n’omuntu oba ekitongole kyonna ku nsonga kubanga ye taliiwo kugootaanya nteekateeka yadde emirimu gya KCCA.
Wabula minisita wa Kampala Hajjati Minsa Kabanda alagidde abakulu mu KCCA okumuwa alipoota ku nsonga eno obutasukka ku Lwakusatu nga 20 omwezi guno.#