OMinister omubeezi ow’amaka n’abaana mu ministry y’ekikula kya bantu, Sarah Mateke Nyirabashitsi, alagidde amaka agakuuma abaana abatalina mwasirizi agawera 50 gaggalwewo mu district ye Wakiso.
Minister abadde mu nsisinkano n’abakulembeze ba district ye Wakiso awamu n’abakulira amaka ago, wamu n’abazungu abagabirira amaka ago.
Minister agambye nti etteeka liragira buli muntu asaanye okusooka okwewandiisa n’ebimukwatako byonna singa abeera ayagala okutwala okulabirira omwana atakiiko mwasirizi.
Minister Mateke era alaze obwenyamivu eri abazadde abeesuliddeyo ogwanagamba ku nsonga y’okukuza abaana baabwe, nga kino kiviriddeko omuwendo gw’abaana abatalina wabwe okweyongera naddala mu bitundu bye Wakiso ne Kampala
Omukugu avunanyizibwa ku by’amaka nabaana, Mutanda Sharfic, bwabadde ayitayita mu maateeka agalabirira abaana gebalina okukoleramu obutiribiri, agambye nti abaana bakyeyongera obunji okuba kunguudo kubanga obutabanguko mumaka musuusse.
Waliwo amaka 26 mu district ye Wakiso agakola nga tegafunanga lukusa okuva mu minisitule y’ekikula ky’abantu, kigambibwa nti ate gegasingamu abaana abangi.
Ssentebe wa district ye Wakiso, Dr Matia Lwanga Bwanika asabye abakwatibwako okwewala okuwa abaana bano eri abantu bebatekenneenyeza kimala, nti kubanga abamu babatulugunya.
Bisakiddwa: Kawuma Masembe