Minister omubeezi ow’ensonga z’e Karamoja ng’era ye mubaka omukyala owa District ye Buduuda Agnes Nanduttu akomezebwawo leero mu kkooti ewozesa abalyake n’abakenuzi e Kololo, okuwulira okusaba kwe okw’okweyimirirwa ku misango gyókubulankanya amabaati ge Kalamoja.
Nga 19th omwezi April, Nanduttu yasindikibwa ku alimanda ku meere e Luzira.
Minister yaggulwako emisango gy’okwezibika eminwe gy’ amabaati gábakalamoja 2000, agaali gaweereddwayo government ng’eyita mu office ya sabamnisita.
Mu kusaba kwe okweyimirirwa, minisita agamba embeera ye Luzira tagisobola kubanga alina ekirwadde kyémisuwa ekya Severe Venous Insufficiency, ekireetera okukendeera kwomusaayi okuyita mu misuwa okudda ku mutima, nga bwaba tayambiddwa kuyimbulwa kyandireeta obuzibu ku bulamu bwe.
Omulamuzi wa kkooti enkulu ewozesa abalyake nabakenuzi Jane Kajuga yagenda okuwulira okusaba kuno.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam