Police ya Uganda ekakasizza nga bwezudde eyaliko omutendesi wa ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes, Mike Hilary Mutebi, eyabadde abuze ku bantu be okumala ennaku 2 nga tebamanyi bimukwatako.
Amyuka ayogerera Police mu Kampala n’emiriraano, Luke Owesigere, agambye nti Mike Mutebi yabuze ku sunday nga 08 March,2026, era abantu be nebategeeza ku police nayo netandikirawo omuyiggo.
Asaangiddwa mu lusuku olumu mu bitundu bye Kisubi e Ntebe, naatwalibwa mu ddwaliro okwongera okumwekebejja okumanya embeera gyalulimu.
Omutendesi Mike Mutebi yabuze ku bantube bweyabadde agenze ku mukolo ogumu ogwategekeddwa e Kereziya ku Kisubi Beach e Ntebe.
Mike Mutebi yakoma okutendeka omupiira mu 2022 ku club ya AS Kigali eya Rwanda, era yatendekako ne club ya Villa Jogo Ssalongo.
Okusinga omutendesi Mike Mutebi erinnya yalikolera ku club ya KCCA, era yakyasembeyo okuwangulira KCCA ekikopo mu 2019.
Yatendeka KCCA emipiira 247, yawangula emipiira 152, amaliri ga mipiira 56 ate yakubwa emipiira 39.
Mike Mutebi ebbanga ery’e myaka 5 gye yamala ku KCCA okuva mu 2016 okutuuka mu 2021, yawangula ebikopo bya liigi 3, ebya Uganda Cup 2, ebikopo 4 ebya Super Cup n’ekikopo ekya CECAFA Club Championships.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe












