Matia Mulumba Kalemba yoomu ku bajulizi ba Uganda 22 abeesiimi, era abajagulizibwa buli nga 03 June, e Namugongo Wakiso mu Uganda.
Omujulizi MATIA MULUMBA KALEMBA yali yeddira NTE, era yali Musoga okuva e Bunya mu Busoga.
Okujja mu buganda, Matia Mulumba yali yanyagibwa omusajja Magatto omusajja eyali Omuganda n’amuleeta n’amukuza ng’omwana we yennyini, era n’amuwa n’erinnya (Magatto) ery’omuziro gwe Ogw’omusu.
Olwobuwulize obukkakkamu n’eggoonjebwa, Mulumba yajja akuzibwa mpompola mu bifo by’obukulembeze eby’enjawulo, okutuusa lweyatuuka ne ku ddaala y’omumyuka w’omwami w’essaza Bulemeezi, oluvannyuma ne Ssingo.
Mulumba yali musajja Ngwanguli yennyini, anti yalina abakazi lutotto.
Wabula oluvannyuma lw’okunnyikira mu ddiini, abakazi bonna yabeegobako n’asigaza omu yekka KIKUWA gweyagattibwa naye mu bufumbo obutukuvu.
Matia Mulumba yafa mu ntiisa anti yasibibwa ku muti n’akolokotwako ennyama n’asigaza magumba, era n’abeera mu bulumi obwo okutuusa lweyatondoka, nga teyeemulugunyizza!
Ku muti kweyasibwa, Matiya Mulumba yamalako ennaku ssatu okuva nga 27 okutuusa nga 30 May 1886 lweyassa ogw’enkomerero.
Omuti ogwo gwali mu bitundu bya Old Kampala kweyafiira, era wennyini wewaazimbibwa eklezia ya St.Matia Mulumba.
Yafa alina emyaka 50 egy’obukulu, era ye muwolereza W’amaka.
Bikungaanyiziddwa: Kamulegeya Achileo K