Olukiiko lwa Ssaabataka lwanjuliddwa Omutaka Lwomwa Omuggya Eria Lwasi Buzaabo , Oluvannyuma lw’ekiseera okuyita nga Lwomwa Omubuze Eng Daniel Bbosa aterekeddwa.
Omukolo gubadde mu mbuga enkulu mu Bulange e Mengo, era nga gukoleddwa katikkiro w’Ekika ky’Endiga Paul Kiyinji Luwombo.
Katikiro w’Ekika Paul Kiyinji Luwombo yebazizza olukiiko lwa Ssaabataka, Olwokukola okulambika okulungi ku ngeri ennungamu eyitwaamu okuzuula Lwomwa.
Omukubiriza w’Olukiiko lwa Ssaabataka Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba, asibiridde Lwomwa Omugya entanda, era namwaniriza mu lukiiko lwa Ssaabataka.
Omukulu w’Ekika ky’Endiga Lwomwa Luggya Lwasi Buzaabo aweze okukola obutawerwa okukulakulanya ekika kye wamu nobwa Kabaka okutwaliza awamu.
Omutaka Lwomwa oluvanyuma lw’okumwanjula agabudde olukiiko lwa Ssaabataka ekita ky’Omwenge ng’akabonero akalaga obwa sseruganda.
Bisakiddwa: Nakato Janefer