Obwakabaka bwa Buganda butongozza enteekateeka ya Luwalo Lwaffe ey’omwaka 2026, abantu ba Kabaka mwebayita okukiika embuga n’okuwaayo ensimbi okudduukirira emirimu n’obuweereza bw’Obwakabaka.
Luwalo Lwaffe 2026 atongozeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga mu Bulange e Mengo.
Katikkiro yeebazizza nnyo abantu ba Kabaka olw’okunyiikira okuwaayo kyeyagalire, era ng’omwaka oguwedde 2025 baawaayo ensimbi eziri mu kawumbi kalamba n’obukadde lwenda.
Agambye nti ensimbi ezo zaakozeseddwa mu ngeri ennuηηamu, okuli ekyÉbyenjigiriza, Ebyobulamu, Ebyobulimi nÉbyobulambuzi.
Kamalabyonna azzeemu okugumya abantu b’Omutanda obutaggwamu Ssuubi banyiikiririre byebakola, nga beesigama ku mulamwa Ogw’okusitula omutindo mu buli kyebakola olwo bafunemu ensimbi ate beeyagalire mu ggwanga lyabwe Buganda.

Mu mbeera yeemu Obwakabaka busiimye amasaza n’eggombolola ebyakira ku binnaabyo mu kuwaayo Luwalo Lwaffe omwaka oguwedde 2025, era nebiweebwa ebirabo.
Mu birabo ebibaweereddwa kuliko Obutebe, Weema, Obutuuti, Ebyuma ebyokya empapula, Kkompyuta n’ebirala.
Minisiter wa Gavumenti ez’ebitundu Owek. Joseph Kawuki ayanjulidde Obuganda engeri buli Ssaza gyelyakolamu omwaka oguwedde nga Kyaddondo yeyanywa mu malala gonna akendo.
Kyadondo yaleeta ensimbi eziri eyo mu bukadde 410, amalala negagoberegana Buddu, Busiro, Ssingo, Kyaggwe, Buweekula, Gomba, Busujju, Ssese, Kkooki, n’amasaza amalala okuva ebweru wa Uganda n’ebweru wa Buganda.
mlMu kutongoza n’okuggulawo Luwalo Lwaffe, amasaza agakiise embuga kuliko Bulemeezi ne Kabula nga eggombola ezikiise embuga kuliko; Ssaabagabo Kinuuka ne Ssaabaddu Lyatonde-Kabula, Ssaabaddu Kapeeka, Ssaabagabo Nakaseka, Mut I Nakaseke ne Mut X Ssemuto-Bulemeezi.

Abantu kinnoomu n’ebitongole bakiise embuga okuli aba Walimu National Club Foot Program abajjanjaba abaana abazaalibwa n’obulemu ku bigere ekimanyiddwa nga “Zaamufuula” bawaddeyo akakadde kamu ate n’omubaka omulonde owa Bukomansimbi South Hon Hassan Mukiibi Sserunjogi n’awaayo obukadde butaano.
Okutwalira awamu abakiise embuga bazze n’oluwalo lwa nsimbi obukadde 23,600,000/=.
Omukolo gwetabyeko abaami b’amasaza nga bakulembeddwamu Kaggo Hjji Ahmed Magandaazi wamu n’abaami b’eggombolola eziwera.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K











