• Latest
  • Trending
  • All
Lutikko y’e Lubaga ejaguzza emyaka 100 bukyanga etukuzibwa 1925 – 2025  – ettaka lyawebwayo Obwakabaka bwa Buganda

Lutikko y’e Lubaga ejaguzza emyaka 100 bukyanga etukuzibwa 1925 – 2025 – ettaka lyawebwayo Obwakabaka bwa Buganda

October 26, 2025
President Museveni ayisizza ekiragiro – eyali omulamuzi Augustine Nshiimye Sebuturo aziikibwe mu bitiibwa by’eggwanga

President Museveni ayisizza ekiragiro – eyali omulamuzi Augustine Nshiimye Sebuturo aziikibwe mu bitiibwa by’eggwanga

April 4, 2026
Abagoberezi ba Kristo mu Uganda batambuzza ekkubo ly’omusaalaba – nebavumirira ebikolwa eby’okutulugunya abantu mu ggwanga n’aabenyigira mu bikolwa ebyekko bekomeko

Abagoberezi ba Kristo mu Uganda batambuzza ekkubo ly’omusaalaba – nebavumirira ebikolwa eby’okutulugunya abantu mu ggwanga n’aabenyigira mu bikolwa ebyekko bekomeko

April 3, 2026
Olusirika lw’Abakulembeze mu Buganda luggaddwawo n’okuyisa ennyiingo 6 zebalina okugoberera mu nkola y’emirimu

Olusirika lw’Abakulembeze mu Buganda luggaddwawo n’okuyisa ennyiingo 6 zebalina okugoberera mu nkola y’emirimu

April 2, 2026
Omutemu asanjaze abaana 4 abasanze ku ssomero e Ggaba – abatuuze bamukutte

Omutemu asanjaze abaana 4 abasanze ku ssomero e Ggaba – abatuuze bamukutte

April 2, 2026
Parliament eyisizza etteeka erikwata ku by’okukebera n’okutereka endagaluse ng’ababyetaaga balina kusooka kufuna lukusa – biri mu The Forensics And Scientific Analytical Services bill, 2025

Embalirira y’eggwanga ey’omwaka gw’ebyensimbi 2026/2027  ya Trillion 84 eyanjuddwa eri parliament – yeyongedde trillion 12 okuva ku mbalirira ya 2025/2026

Embalirira y’eggwanga ey’omwaka gw’ebyensimbi 2026/2027 ya Trillion 84 eyanjuddwa eri parliament – yeyongedde trillion 12 okuva ku mbalirira ya 2025/2026

April 1, 2026
Government etongozza omwezi gwa April 2026 eri abakozi baayo okwanja eby’obugagga byabwe – bakukozesa omutimbagano

Government etongozza omwezi gwa April 2026 eri abakozi baayo okwanja eby’obugagga byabwe – bakukozesa omutimbagano

April 1, 2026
Emmotoka etwala abayizi ku ssomero etegulukuse neyingirira amaka ga ssentebe w’e Kisala mu Bukomansimbi – abayizi bakoseddwa

Abantu 2 bafudde ekiziyiro kya sigiri e Luweero – omulala ali mu mbeera mbi

April 1, 2026
Parliament eyimirizza eby’okuddaabiriza enguudo mu bitundu – sente akawumbi akamu akaweebwa buli district ababaka bagamba nti tebalaba kyezikola

Parliament eyimirizza eby’okuddaabiriza enguudo mu bitundu – sente akawumbi akamu akaweebwa buli district ababaka bagamba nti tebalaba kyezikola

April 1, 2026
Olusirika lw’abakulembeze ba Buganda olwa 2026 – essira liteekeddwa ku kusitula Omutindo mu buli ekikolebwa

Olusirika lw’abakulembeze ba Buganda olwa 2026 – essira liteekeddwa ku kusitula Omutindo mu buli ekikolebwa

April 1, 2026
Kabaka Birthday run 2026 – Aba Uganda Baati, Nalya SS ne East African Medical Vitals bakiise embuga nebagula emijjoozi gya shs bukadde 25

Kabaka Birthday run 2026 – Aba Uganda Baati, Nalya SS ne East African Medical Vitals bakiise embuga nebagula emijjoozi gya shs bukadde 25

March 31, 2026
Uganda ekyalina amafuta agamala wadde nga wakyaliwo okusomoozebwa kw’olutalo lw’e Iran – Government egumizza bannauganda

Uganda ekyalina amafuta agamala wadde nga wakyaliwo okusomoozebwa kw’olutalo lw’e Iran – Government egumizza bannauganda

March 31, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

Lutikko y’e Lubaga ejaguzza emyaka 100 bukyanga etukuzibwa 1925 – 2025 – ettaka lyawebwayo Obwakabaka bwa Buganda

by Namubiru Juliet
October 26, 2025
in Amawulire
0 0
0
Lutikko y’e Lubaga ejaguzza emyaka 100 bukyanga etukuzibwa 1925 – 2025  – ettaka lyawebwayo Obwakabaka bwa Buganda
0
SHARES
82
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Emykq giweze 100 ne ddu, bukyanga Lutikko ya St.Mary’s Cathedral Lubaga ezimbibwa netukuzibwa mu 1925.

Lutikko eno etudde ku ttaka eryawebwayo Obwakabaka bwa Buganda, era mu kifo kino wewaali olubiri lwa Kabaka Muteesa I.

Emissa n’emikolo egy’okwebaza Katonda olw’ekkula lya Lutikko jikuziddwa nga 26 October,2025.

Kubaddeko n’okujaguza emyaka 59 bukyanga essaza ekkulu erya Kampala litongozebwa.

Ssaabasumba wa Kampala Paul Ssemogerere ategeezezza nti mu myaka 100, lutikko eno bangi bagifuniddemu essanyu omuli obufumbo obutukuvu, abafunye obusasorodooti, ababatiziddwa, n’essaala ezikyusizza obulamu bw’abwe.

Ebikujjuko by’okuweza emyaka 100 egya lutikko y’e Lubaga bibaddeko okutongoza emirimu egyenjawulo egigenda okuyambako eklezia okwongera okufunamu ensimbi.

Ekkaddiyizo ly’ebintu eryatuumiddwa Kabaka Muteesa I Memmorial Catholic Museum lyeryasoose okutongozebwa.

Mu ngeri yeemu Ssaabasumba Paul Ssemogerere atongozza ekifo awagenda okusimbibwa emmotoka okumpi ne Lutikko,  Asimbye Omuti gw’Omuvule ku lutikko, okutongoza Ennyumba y’Abasasolodooti okuli Libraly , Ekisenge omukolerwa Dduyiro( GYM) Ebisenge ebisulwamu Abasasseredooti ne wofiisi z’Essaza.

Ku mukolo guno ogw’okujaguza emyaka 100, egya lutikko ye Lubaga, Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alagidde nti enkolagana wakati w’Obwakabaka ne Eklezia Katulika eyongere okunywezebwa.

Omutanda era asabye eklezia obutakoowa mu kaweefube waayo ow’Okulwanyisa okusosola n’Ekityoboola ddembe lya Buntu akigende mu maaso mu ggwanga.

Obubaka bwa  Ssaabasajja abutisse Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, era Empologoma yebazizza Eklezia olw’Okufa ennyo ku mbeera z’Abantu n’Eddembe lyaabwe wamu n’Obutava ku mazima.

Ssaabasajja alagidde bannaddiini okubeera abasaale mu kutaasa abavubuka obutatwalibwa muyaga gwa byabufuzi, era ewengayo obudde okukubaganya ebirowoozo ku ngabanya y’Ebyobugagga bw’Ensi Uganda.

President wa Uganda Gen Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa y’abadde omugenyi omukulu,  atenderezza nnyo abakulembeze mu Eklezia Katolika abakulembeddemu Olutalo lw’Okulwanyisa Obwavu nga balima Emmwanyi n’Okulunda.

President yeyamye okukwasizaako bannaddiini abayamba ku Bantu okuva mu Bwavu.

President Museveni yebazizza Eklezia olw’Okulyowa emyoyo entakera n’Okwenyigira mu nteekateeka z’Enkulaakulana ezenjawulo, kyokka naasaba abantu ba Katonda Obutakoowa kugikwasuzaako mu mbeera zonna.

Ssabasumba w’Essaza ekkulu erye Kampala Paul Ssemogerere, mu maaso g’Omukulembeze w’Eggwanga  yennyamidde olw’Ekibba ttaka ekisukkiridde mu ggwanga ekituuse n’Okutwaliramu Ettaka lya Eklezia, nekiziηamya enkulaakulana, naasaba president okubaako kyakolawo.

Ssabasumba mu ngeri eyenjawulo asabye abakwatibwako mu government n’Ebitongole ebikuuma ddembe,obuteenyigira mu kityoboola ddembe lya Buntu, naddala mu kiseera nga eggwanga lyolekera Akalulu  ka bonna aka 2026.

Ssabakristu w’Essaza lye Kampala Emilly Kitto Mwaaka wamu ne ssentebe w’Olukiiko oluteseteese ebikujjuko by’Emyaka 100 gya Lutikko Eng Pius Mugalaasi Mugerwa, ng’ali wamu n’Omwogezi w’Olukiiko oluteeseteese emikolo Omuk John Fred Kiyimba Free Man, bebazizza abantu ba Katonda abawagidde enteekateeka zino.

Omukolo guno gwetabiddwako Abalangira n’Abambejja, Katikkiro wa Buganda eyawummula Owek Dan Muliika, Owek Amb Emmanuel Ssendawula, omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek Patrick Luwaga Mugumbule, ba minister b’Obwakabaka abaliko n’Abaawummula, n’Abaami b’Amasaza.

Mu government eya wakati Ssabaminister Robina Nabbanja abaddewo, Owek JC Muyingo minister omubeezi ow’ebyenjigiriza ebyawaggulu , Minister wa Kampala Hajat Minsa Kabanda, minister Justine Kasule Lumumba , Ababaka mu lukiiko lw’Eggwanga olukulu , ba ssentebe ba district n’Abantu abalala bangi ddala ababadde bakwatiridde ku lutikko.

Bannaddiini abeetabye mu kitambiro ky’Emmisa kino mubaddemu Omubaka wa Paapa eyawummula Ssabasumba Dr. Augustine Kasujja, Omusumba w’Essaza lye Masaka Kitaffe Siverus Jjumba, Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda Kitaffe mu Katonda Samuel Steven Kazimba Mugalu, Prof Sheikh Muhammad Kiggundu ku lwa Supreme Mufti n’Ebikonge ebirala bingi.

Bisakiddwa: Kato Denis ne Kawuma Masembe

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • President Museveni ayisizza ekiragiro – eyali omulamuzi Augustine Nshiimye Sebuturo aziikibwe mu bitiibwa by’eggwanga
  • Abagoberezi ba Kristo mu Uganda batambuzza ekkubo ly’omusaalaba – nebavumirira ebikolwa eby’okutulugunya abantu mu ggwanga n’aabenyigira mu bikolwa ebyekko bekomeko
  • Olusirika lw’Abakulembeze mu Buganda luggaddwawo n’okuyisa ennyiingo 6 zebalina okugoberera mu nkola y’emirimu
  • Omutemu asanjaze abaana 4 abasanze ku ssomero e Ggaba – abatuuze bamukutte
  • Parliament eyisizza etteeka erikwata ku by’okukebera n’okutereka endagaluse ng’ababyetaaga balina kusooka kufuna lukusa – biri mu The Forensics And Scientific Analytical Services bill, 2025

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist