• Latest
  • Trending
  • All
ku mukwano ogw’ebikukujju lyanjulwe

ku mukwano ogw’ebikukujju lyanjulwe

April 3, 2023

UPC esunsudde babiri abagenda okuvuganya ku bwa president 

May 22, 2025

FUFA eyanjudde ekikopo ekipya ekigenda okuwakanirwa club zababinywera

May 22, 2025

Obuwumbi obusoba mu 5 ezokulondoola PDM – Ssozi Galabuzi ayitiddwa abitebyetebumanyiddwako mayotire

May 22, 2025

President Museveni alabudde abakozi ba government abeebakira ku mirimu – anokoddeyo ekitongole ky’amazzi n’amasannyalaze

May 22, 2025
Abakuumi balwanidde sente shs 13000 e Kabowa – omu asse munne

Omuzigu akubye babiri amasasi agabattiddewo e Namayumba

May 22, 2025
Katikkiro Mayiga atuuse e Boston – agenda kusooka kusisinkana aba Ggwangamujje Boston

Katikkiro Mayiga atuuse e Boston – agenda kusooka kusisinkana aba Ggwangamujje Boston

May 22, 2025
Ababaka ba parliament 7 besozze NUP  nga wabulayo mbale okutuuka ku kalulu ka 2026

Ababaka ba parliament 7 besozze NUP nga wabulayo mbale okutuuka ku kalulu ka 2026

May 21, 2025
Aba NRM abaataataganya okulonda kwe Ssembabule kooti ebayimbudde

Aba NRM abaataataganya okulonda kwe Ssembabule kooti ebayimbudde

May 21, 2025
Omulamuzi Simon Byabakama ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda ayagala abasirikale abatabangula okulonda bakangavvulwe olw’okugotaanya ebyenfuna by’eggwanga

Omulamuzi Simon Byabakama ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda ayagala abasirikale abatabangula okulonda bakangavvulwe olw’okugotaanya ebyenfuna by’eggwanga

May 21, 2025
Busiro CBS Pewosa Sacco etuuzizza Ttabamiruka wa 2024 – Omumbejja Aisha Nakalema Kabejja alondeddwa nga ssentebe omuggya

Busiro CBS Pewosa Sacco etuuzizza Ttabamiruka wa 2024 – Omumbejja Aisha Nakalema Kabejja alondeddwa nga ssentebe omuggya

May 21, 2025
Enkalu zeyongedde mu musango oguvunaanibwa Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya – baziddwayo ku alimanda

Enkalu zeyongedde mu musango oguvunaanibwa Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya – baziddwayo ku alimanda

May 21, 2025
Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo lw’e Mityana – emmotoka zitomereganidde e Bujuuko

Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde e Wantoni – abalala 9 bali mu mbeera mbi

May 21, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

ku mukwano ogw’ebikukujju lyanjulwe

by Namubiru Juliet
April 3, 2023
in Amawulire, Features, Opinions
0 0
0
ku mukwano ogw’ebikukujju lyanjulwe
0
SHARES
95
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Ministry y’ebyensimbi n’okutekeratekera eggwanga  ewaddeyo ekiwandiiko ekimanyiddwanga Certificate  of Financial Implication eri ababaka ba parliament abawomye omutwe mu bbago ly’etteeka erigenda okulwanyisa obufumbo n’omukwano ogw’ebikukujju mu ggwanga.

Certificate eno yeraga obulabe ebbago lino bweririna eri eggwanika ly’eggwanga, songa era certificate eno eyoleka nti government neteefuteefu okussa mu nkola etteeka lino singa liba liyisiddwa..

Certificate eno mu mbeera yeemu eyoleka  nti government esemba ebbago lino lyanjulwe.

Ebbago ly’etteeka lino okuva lweryayogerwako nti ligenda kubagibwa, wabaddewo ebibuuzo bingi oba ministry y’ebyensimbi enawaayo certificate eno, olw’ensonga nti amawanga mangi agawagira omuze gwebisiyaga ate gavujirira Uganda n’obuyambi buyitirivu okuli ensimbi nebirala ebiwanirira embalirira y’eggwanga.

Omubaka wa Bugiri Municipality Asuman Basaalirwa awomye omutwe mu bbago lino, essaawa yonna asuubirwa okuweebwa obudde okulyanjulira parliament mu butongole era lisomebwe omulundi ogusooka, olwo lisindiikibwe mu kakiiiko okulyekeneenya.

Akakiiko ka parliament akalondoola eby’amateeka kekagenda okulyekeneenya, era nga kigambibwa nti singa tewabaawo kikyusibwa, kirowoozebwa nti lyandiyisibwa wiiki eno.

Akakiiko Kano akeby’amateeka ensonda zibuulidde radio CBS nti kandiweebwa ennaku 2 zokka okwekeneenya ebbago lino ,kanjule alipoota yaako mu  parliament n’oluvannyuma eriyise.

Ebbago lino  Anti Homosexuality Bill 2023, liteereddwamu ebibonerezo eri abeenyigira ku muzze guno, abagutumbula, abasikiriza abalala naabo abakkaka abalala okwenyigira mu muzze guno.

Ebibonerezo bino kuliko okusibwa emyaka 10 eri abeenyigira mu mukwano ogw’ebikukujju n’okutanza abo abatumbula obugwenyufu buno nga bakusatanga ensimbi obukadde 100 singa gubakka mu vvi.

Kinnajjukirwa nti mu mwaka etteeka lyerimu bweryayisibwa 2014, court yalisazaamu oluvanyuma lw’abamu ku babaka okuddukira mu kkooti okuwakanya engeri ebbago lino gyeryayisibwamu nti omuwendo gwabwe  ogwessalira gwali teguwera.

Parliament mu mwaka 2014 bweyayisa ebbago lino, ensi nnyingi ezaali ziwa Uganda obuyambi zaabusalako era government yeesanga mu kusoomozebwa.

Omusoomozebwa mu kiseera kino oluvanyuma lwa ministry y’ebyensimbi okuwaayo certificate eno emanyiddwanga certificate of financial implication ,kwekulaba oba amawanga agawa Uganda obuyambi era ganaabusalako nga bwegaali gakoze mu mwaka 2014.#

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • UPC esunsudde babiri abagenda okuvuganya ku bwa president 
  • FUFA eyanjudde ekikopo ekipya ekigenda okuwakanirwa club zababinywera
  • Obuwumbi obusoba mu 5 ezokulondoola PDM – Ssozi Galabuzi ayitiddwa abitebyetebumanyiddwako mayotire
  • President Museveni alabudde abakozi ba government abeebakira ku mirimu – anokoddeyo ekitongole ky’amazzi n’amasannyalaze
  • Omuzigu akubye babiri amasasi agabattiddewo e Namayumba

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

- Select Visibility -