Kkooti enkulu mu Kampala etaddewo olwa 22 December,2025 okuwa ensala y’omusango gwa munnaNUP era Omuyimbi Mathias Walukagga gweyawaabira akakiiko k’ebyokulonda.
Walukagga awakanya ekyasalibwawo akakiiko okumuwanduukulula mu lwokaano lw’okuvuganya ku kifo ky’omubaka wa Busiro East mu kalulu ka 2026.
Waliwo omulonzi wa Busiro East eyeemulugunyiza akakiiko k’ebyokulonda ng’alumiriza nti Walukagga talina bisaanyizo bya buyigirize bimukkiriza kwesimbawo ku kifo ky’omubaka wa Parliament
Mu kiwandiiko ekyafulumizibwa akakiiko k’ebyokulonda, kyalaga nti akakiiko kaddamu nako nekekennenya ebiwandiiko by’obuyigirize Walukagga byeyatwalayo ng’agenda okusunsulwa ku kifo ekyo, nekakizuula nti byali tebituukana na buyigirize bwa senior eyomukaaga eyessalira okwesiimba ku kifo ekyo, era nekamuwanduukulula.
Walukagga yaddukira mangu mu kkooti naawakanya ebyasalibwawo akakiiko, era kati alinze ekinaasalibwawo kooti, olwo abuulire abawagizi be kyazaako.
Omulamuzi wa kkooti enkulu, Simon Peter Kinobe agambye nti ensala y’omusango yakuweebwa okuyita ku mutimbagano ku mukutu gwa email.#












