Omulamuzi wa kkooti enkulu Dr. Daglas Singiza awadde ekitongole ekivunaanyizibwa ku butonde bw’ensi ki National Environment Management Authority (NEMA) wiiki bbiri zokka okwewozako ku musango ogwawaabwa abatuuze b’e Kibiri A ne Bubu e Busaabala, nga bawakanya eky’okussaako obulambe ku nnyumba zabwe nti zigenda kumenyebwa.
Abatuuze bano baawawaabira ekitongole kya NEMA nga bakiranga okulamba ettaka lyabwe nti liri mu ntobazzi nga tebasoose kubebuzaako.
Bagambye nti bamaze emyaka mingi nga babeera mu kitundu ekyogerwako era nga tebategeezebwangako nti ekitundu kino kiri mu ntobazzi.
Munnamateeka waabwe Yasin Ssentumbwe agambye nti NEMA yasalawo nti ettaka okutudde ennyumba z’abantu be liri mu ntobazi era zoolekedde okumenyebwa nga tesoose kubawa mukisa kwewozaako.
Abatuuze baagala Kkooti erangirire nti okusalawo kwa NEMA n’okumenya amayumba gabwe nti olw’okubagalu mu ntobazi nti kimenya mateeka.
Bisakiddwa: Betty Zziwa