Omulamuzi wa kkooti enkulu Joyce Kavuma alamudde nti registrar oba omuwandiisi wébyapa by’ettaka ye yekka alina obuyinza obusazaamu ekyapa kyéttaka, okusinziira ku nnyingo eye 88 eyétteeka lyéttaka, so si biragiro bya minister.
Etteeeka likirambika bulungi nti registrar oyo ayinza okusazaamu ekyapa singa kiba kyagabibwa mu bukyamu, nga kiriko obulemu bwonna oba nga kyagabibwa mu mankweetu sinakindi ngómuntu akirina mu bumenyi bwámateeka.
Ennamula evudde ku kya Minister omubeezi owébyettaka Sam Mayanja eyalagira ekyapa kya poloti 2 ezisangibwa e Naggulu ezékitongole ekiyitibwa Misbahu Din Muslim Community kisazibweemu, abékitongole ekyo kwe kuddukira mu kkooti ne bakiwakanya.
Mu mpaaba yabwe baasaba kkooti eramule nti ebiragiro bya minisTER oyo byali bikyamu nnyo nga bifeebya office ye nókukozesa obubi obuyinza.
Wabula mu kwanukula ssaabawolereza wa government agqaambye nti minister teyalagira kyapa kisazibweemu, naye yawandiikira omuwabuzi wa president owénjawulo námusaba agoberere ensonga eyo, kyokka mpaawo kyali kikolebwa.
Wewaawo kkooti ekkaanyizza némpoza eyo, wabula ekikaatirizza nti nebwewandibaddewo ekyakolebwa kyandibadde kikyamu, kubanga minister talina buyinza okulagira basazeemu ekyapa, okuggyako ngágoberedde emitendera emituufu.
Bisakiddwa: Betty Zziwa












