Embuga ya Kisekwa ekakasizza nti omutaka Gabunga Mubiru Ziikwa owa 37 yeyali Omusika omutuufu ow’Omutaka Yosiya Kasozi eyali Gabunga owa 36, eyabula mu 2009.
Mu Nsala eyaweebwa Embuga ya Kisekwa ey’omulundi ogwokuna, esomeddwa akulira kkooti ya eno omuggya Dr.Robert Ssonko agambye nti abawawabirwa omuli Dr.Adams Kimala n’olukiiko olwali lukulira ekika ky’emmamba tebalina musango gwonna gwebaakola nga basaaako omusika wa Yosiya Kasozi.
Mu mwaka 2012, abawaabi okuli Erusania Ssevviiri Galiwango, Ruth Ndagire , Alex Ndiwalana saako Mirembe Ruth era bonna babaddewo mu kkooti, baddukira mu Mbuga ya Kisekwa nga bawakanya James Mubiru Zziikwa okusikira kitaawe Yosiya Kasozi Gabunga owa 36, nga bagamba nti kino kyakolebwa mu bukyamu.

Omuk. Robert Ssonko ategezezza nti omugenzi Yosiya Kasozi mu kiraamo kye yalambika bulungi nti James Mubiru Ziikwa ye musika we era nga ye Gabunga eyali Alina okusikira akasolya ako.
Omukungu Ssonko nga asoma Ensala ya Kisekwa era agambye nti ebisaliddwawo si bya kwawula kika wabula okuluηηamya n’okugatta ababadde batakiriziganya n’ebimu ku bibadde bigenda maaso mu kika kino.
Kyobe Gerald Kaberenge Katikkiro w’ekika ky’emmamba agambye nti ab’ekika kyemmamba basaanye basigale nga Bali bumu kubanga bamusaayi gwe gumu..

Omusango guno guludde mu kkooti ya kisekwa era nga gumaze emyaka egisoba mu 12 nga guwulirwa n’okunoonyerezebwako.
Ensala eno eteredwako emikono gyabamemba b’embuga ya Kisekwa abaawumula, okuli Omukungu JM Kateregga nga ye Kisekwa omuwummuze, Omuk Lubega Ssebende omuwandiisi, Wilson Ssentoogo, Jamil Ssewanyana, Samuel Walusimbi, George Makumbi, Deogratius Kasozi ne Salim Makeera.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius ne Kato Denis











