Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga abasabye abantu ba Buganda mu kiseera kino eky’okulonda obutakanda besimbyewo kubawa nsimbi basobole okufuna obukulembeze obutukiridde nga batuuse muntebe.
Katikkiro okwogera bino abadde mu bimuli bya Bulange e Mengo , nga tikkura abantu ba ssabasajja Kabaka okuva mu gombolola ezenjawulo ezikola amasaza okuli Kyadondo, Busiro ne Buddu bakiise embuga olwaleero munkola eya Luwalo Lwange era baguze certificate za bukadde 25,387,616 okuzimba obwakabaka bwabwe.
Katikkiro yebaziza abantu abakiise embuga nabasa okwongera eokujjumira emirimu gy’obwakabaka basobole okuzimba Buganda ey’omumaaso eyegombesa.
Cue in—————–MAYIGA MIRIMU
Owek Joseph Kawuki minister omubeezi wa govt ez’ebitundu yebaziza abantu ba kabaka mu ssaza gonna olw’bujjumbize bw’okukiika embuga era ekkubo erizza Buganda kuntiko tangaavu.
Bano nga bakulembedwamu omwami wa kabaka wa kabaka ow’essaza Busiro Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza, omumyuka wa ppokiino Mwarimu Kato Abdullah.
Egombolola ezivudde e Busiro kubaddeko Sabawaali Kasanje ereese ensimbi obukadde 6 n’omusobyo, Sabaddu Katabi ereese obukadde 3 n’omusobyo, ate e Buddu, Musaale Butenge ereese emitwalo 70, mutuba 13 Kisekka ereese akakadde 1,200,000 ate nga egombolola ya Ssabagabo Lufuka okuva e Kyadondo ereese akakadde kamu wabula nga ne banabyabufuzi okuva ku masaza gano nabantu sekinoomu baguze certificate nyingi ddala okuzimba obwakabaka bwabwe.