Obukadde bwa shs 74 n’Omusobyo bwebusondeddwa abantu ba Kabaka mu nkola ya Luwalo Lwange, okuva mu Masaza Ssingo, Buddu, Kyaggwe ne Mawogola.
Bwabadde akwasibwa Oluwalo mu Bulange e Mengo, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atenderezza abantu ba Kabaka aboolesezza Obwetowaze eri Empologoma.
Katikkiro era ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’abakulembeze okubeera abetowaze eri bebakulembera era n’okubalowooleza ebirungi, nga batwala eky’okulabirako ky’ Omulangira wa Eklezia Omugenzi Papa Francis, abadde omwetowaze eri abetaavu.
Katikkiro asabye abakulembeze okufuba okumanya ebiruma abantu bebakulembera, n’Okukomya Obucaayi eri abo bebatakwaatagana nabo, era bettanire okutabagana.
Agambye nti ng’abakulembeze n’abantu bonna bingi byetulina okuyigira ku Paapa Francis omuli; Obwetowaze, obuteegulumiza, okutabaganya abalala n’obutabasalira musango, omukwano ogutaalimu bukuusa, n’okussa ekitiibwa mu balala.
Owek Joseph Kawuki Minister wa Government ez’ebitundu era avunaanyizibwa ku bantu ba Kabaka abawangaalira ebweru wa Buganda, asabye abantu ba Ssabasajja Kabaka okwongera okwolesa enkola eyobumu mu byebakola .
Omwami wa Kabaka atwala essaza Ssingo Mukwenda Doe Kagimu agamba nti enkola eya Mwannyi terimba eyambye nnyo abantu ba Ssabasajja Kabaka okweggya mu bwavu ,era neyeyanza nnyo Ssabasajja Kabaka okubawa amalwaliro.
Bisakiddwa: Nakato Janefer ne Kato Denis