Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye Abaami b’Amagombolola mu Bwakabaka okwettanira tekinologiya mu byebakola, kyanguye enzirukanya y’emirimu n’enkulaakulana mu bantu ba Kabaka.
Abadde asisinkanye Abaami b’Amagombolola bonna ku mukolo ogubadde mu Bulange e Mengo.
Katikkiro ategezezza nti Omulembe Omutebi gulina okukozesa tekinologiya okutereeza ebyali byagaana, omuli ebyempuliziganya ebibadde bivumbeera.
Katikkiro era ayanjulidde abaami ba Kabaka enkola ya Situla Omutindo, nti yakuyambako nnyo mu kukyuusa embeera z’abantu omuli ebyenfuna, ebyobulamu, ebyenjigiriza, amaka n’ebiralala ng’omutindo gwegukulembedde.
Minister wa gavumenti ezebitundu Owek Joseph Kawuki,asabye Abaami ba Kabaka okwongera obuyiiya mu nteekateeka Tondeka mu Luwalo, gyagambye nti esobozesezza nnyo abantu ba Kabaka okuwagira gavumenti ya Beene awatali kugitiiririra.
Bisakiddwa: Kato Denis










