Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga aggudewo mu butongole omwoleso gwa CBS Pewosa Nsindikanjake oguyindira mu Lubiri lwa Ssabasajja e Mengo.
Awadde abantu ba Kabaka obubaka okunyiikira okukola nókuwangana amagezi mu nkola y’emirimu egyenjawulo okusobola okukulakulana.
Omwoleso guno gwakumala wiiki namba nga bannamakolero amanene, amatono,abalimi nábalunzi, ebitongole bya government, bannabibiina bya CBS Pewosa nábantu sekinoomu boolesezza.
Sentebe wólukiiko olufuzi olukulembera ekitongole kya CBS Nsindikanjake David Balaaka ategezezza nti omulamwa gwebaliko gwa kukulakulanya abantu ba Kabaka mu bitundu byonna, nga bayita mu myoleso nga gino egitegekebwa.
Ssenkulu wa Radio ya CBS Micheal Kawooya Mwebe agambye nti omwoleso guno gugendereddwamu okusitula emirimu gyabantu nókusingira ddala abaakosebwa ekirwadde kya Covid 19, okuwangana amagezi nókuddamu okuyimirira.
Ebitongole bya governmrmt eby’enjawulo okuli NIRA NSSF, ministry of internal affairs, URA n’ebirala nabyo byolesezza.
Bisakiddwa: Ssebuliba William