
Obwakabaka bwa Buganda busabye abantu baabwo obuteerabira Ttoffaali eryassibwa ku byenjigiriza, eryafuula Uganda kyeri nÓkutuusa leero.
Okuva Obwakabaka lwe bwaggulirawo ensi eno Olujji lwÓkusoma, ba Kabaka bajja baatona ettaka eri Eklezia ,Ekkanisa kko n’Obuyisiraamu, okwazimbibwa Amasomero agomuzinzi.
Bwabadde aggulawo ekizimbe Daudi Chwa okuli Ebibiina ku Somero Kings College Buddo , Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yebazizza akulira essomero lino Canon John Fred Kazibwe, olwÓkujjukira omulimu amatendo Ssekabaka Daudi Chwa gweyakolera Buddo, bweyawaayo Ettaka kweritudde.
Katikkiro ajjukizza Abazadde Obuvunaanyizibwa bwebalina eri Abaana ku nsonga zÓkuweerera, naalabula bonna abalowooza nti okuweerera Omwana kuba kumuyamba buyambi.
Ssaabalabirizi wÉkkanisa ya Uganda Kitaffe mu Katonda The Most Rev Dr Stephen Samuel Kazimba Mugalu nga leero lwaawezezza emyaka omukaaga bukyanga atuuzibwa ku bwa Ssaabalabirizi, yeebazizza katonda olwÓmukululo Canon John Fred Kazibwe gwalese, mu kaseera akatono kaabadde ku ssomero lino.

Canon John Fred Kazibwe, nga Omukulu wÉssomero Kings College Buddo anaatera okuwummula , ategeezezza nti ng’ogyeko okusomesa Abayizi Obulungi, essomero lyongedde ku bungi bwÁbayizi naddala Abawala, ekyongedde omuzinzi mu byenjigiriza byÓmwana Omuwala.
Bisakiddwa: Kato Denis












