Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atongozza entekateeka empya eyÓkugulira ebyÁmaguzi ku kibanja kyÓmutimbagano ekituumiddwa KIBUGA.
Katikkiro ategeezezza nti entambuza yÉmirimu gyébyobusuubuzi kati yetoloolera nnyo ku tekinologiya, era n’enkola za Kibuga zaakuwonya bannansi ebizibu bingi.
Wano wasinzidde naasaba abantu mu Buganda okwettanira tekinologiya.
Enteekateeka eno etongolezeddwa mu Bulange e Mengo.
Katikkiro ategeezezza nti enkola yÓkugulira ebyamaguzi ku mutimbagano nga bayita mu kibanja kya Kibuga, kugenda kuyambako Abavuuka okubaako emirimu gyebakola.
Mulimu okusaabaza eby’amaguzi nga bakozesa pikipiki, era naasaba aba Kibuga okukuuma obwesigwa.
Omumyuka Owokubiri owa Katikkiro era nga ya muwanika w’Obwakabaka Past district governor Owek.Robert Wagwa Nsibirwa,agambye nti enkola ya Kibuga etuukana n’Omulamwa, Embalirira y’Obwakabaka ey’Omwaka gw’Ebyensimbi 2025/2026 kwetambulira.
Ssenkulu wa K2 Telecom Omuk.Arthur Mawanda, agambye nti ekibanja ky’Omutimbagano gw’Akatale ekituumiddwa Kibuga, kireeteddwa Okuyunga bannamakolero, Abalimi n’Abalunzi kko n’Abayiiya, mu Buganda ,Uganda n’Ebweeru wa Uganda.
Newton Kaleera nga ye Ssentebe wa Boodi ya Kibuga, agambye nti enkola ya Kibuga egenda kutaasa abasuubuzi ababadde tebalina bifo byankalakkalira webakolera, nategeeza nti ku Kibanja kino buli muntu asobola okukolerako ensimbi, nga ayita ku Mitimbagano.
Kawooya Innocent nga yavunaanyizibwa ku buyiiya obwetoloolera ku mitimbagano era nga yaakulira ekitongole ki HIPIPO, yebazizza Obwakabaka bwa Buganda olwÉntekateeka eno, gyagambye nti tegenda kukoma ku kufunira bavubuka Mirimu, wabula nÓkuwa government Omusolo.
Abaddukanya Ekibanja ky’Omutimbagano gw’Akatale ka Kibuga, balina enkola ey’Okuzza ekyamaguzi eri nnyinikyo.mssinga tekiba mu mbeera nnungi.
Bannamukago abagenda okwegatta ku Katale ka Kibuga ,kuliko kampuni etunda ebikozezebwa mu maka omuli Fridge eya Gepaas, Saachi ,Hisense, kampuni enkozi yÁmasimu eya Samsung ne Tecno , Geepas, Simbaland, Drop off n’endala nyinji.
Bisakiddwa: Kato Denis











