Eyali omukozi wa CBS Jumah Kagolo Mayanja, eyali omusomi w’ebirango aziikiddwa ku kyalo Kkonko mu Kyaggwe, mu district eye Buikwe nga 21 October,2025.
Okuziika kwetabyeko ebikuminebikumi by’abakungubazi, wakati mu nnamutikkwa w’enkuba afudembye.
Mu bubaka bwa Ssenkulu wa CBS Omuk Michael Kawooya Mwebe obusomeddwa avunaanyizibwa ku nsonga z’abakozi, Joan Nabagesera amutenderezza olw’obukozi n’obuyiiya bweyayolesa mu bbanga ery’emyaka 20 lyeyamala ng’aweereza ku CBS.
Kagolo Mayanja yafiiridde mu ddwaliro e Mulago nga 20 October,2025 ku myaka 60 egy’obukulu.
Kagolo Mayanja yazaalibwa mu mwaka 1965 ku kyalo Kkonko mu Ggombolola y’e Nnyenga mu Ssaza Kyaggwe.
Okusoma kwe yakutandikira ku Kkonko Church of Uganda Primary School gyeyatuulira ekibiina eky’Omusanvu.
Bweyamaliriza Primary, n’ayingira St. James SS gyeyatuulira S.4 mu 1980.
Bweyava awo n’agenda e Jinja mu Busoga ku Eastern College of Advanced Studies gyeyakolera S.6 era n’ayita n’obubonero 20 mu masomo asatu; History, Economics ne Geography.
Kagolo obulamu bwe bwonna abadde musajja mukakkamu ate omuntu w’abantu, ekyamuleetera okubeera n’emikwano egy’engeri ez’enjawulo gyeyayogerako nti gyamuyamba nnyo mu kusoma kwe n’okumufunira emirimu mu bitongole eby’enjawulo.
Yategeezanga nti yatandika okukola nga muto ddala, olw’obuvunaanyizibwa obungi bweyasigaza ku bannyina ne bagandabe, oluvannyuma lw’okufiirwa nnyaabwe.
Yatandika okuweereza mu Laadiyo CBS nga yaakatandikibwawo era ng’aweerereza mu kitongole ky’ebirango ng’omusomi waabyo ku mpewo, omulimu gweyakola ekiseera kyonna kyeyamala ku CBS
Yawummula obuweereza bwa Laadiyo ku ntandikwa ya 2020 ng’anafuye mu bulamu, oluvannyuma lw’okuzuulwamu obulwadde bwa Kookolo ku mutwe obumutawaanyirizza ebbanga.
W’afiiridde ng’alina abakyala n’abaana ate n’abazzukulu.
Tusaba Katonda amusaasire amusonyiwe ebyamusobako ng’omutonde amutuuse mu kifo ky’okwesiima.
Wummula Mirembe Kagolo Mayanja!












