Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli mwaka ng’akuza Amazaalibwaage, akoleramu ebintu eby’omuwendo era eby’amagero ebitava ku mitima gy’abantu , kyokka nga engeri gyabikolamu nayo esigala yewuunyisiza ddala.
Ng’Obuganda bwetegekera okugyaguza amazaalibwa ag’emyaka 70, abakulembeze b’Enzikiriza ezenjawulo mu ggwanga batendereza nnyo Ssabasajja Kabaka olw’okubeera ekyokulabirako ekirungi eri eggwanga mu kutumbula ebyobulamu ebyenjigiriza, embeera z’abantu n’ebirala bingi.
Ssabalabirizi we Kanisa ya Uganda Dr Steven Samuel Kazimba Mugalu agamba nti Ssabasajja aleze Obwakabaka ne Uganda yonna kubanga enteekateeka ze ziganyula buli muntu ewatali kusosola mu mawanga.
Mu ngeri yeemu Ssabalabirizi Kazimba ateenderezza nnyo Ssabasajja Kabaka okubeera omumuli gw’okukuuma n’okuzaawo Obutondebwensi wamu nookuwaayo ettaka okuzimba amasinzizo .
Super Supreme Mufti wa Uganda Sheikh Muhammad Galabuzi agamba nti emyaka 70 egya Ssabasasajja Kabaka agy’obulamu mikulu nnyo mu byafaayo by’eggwanga Uganda.

Super Supreme Mufti agambye nti Omutanda asimye naakola ebintu eby’amaanyi ebizze bikyusa embeera za bantu.
Omulabirizi we Kanisa ya Seventh day Adventist Pastor Dr Moses Maka Ndimukika yebaziza Katonda olwe myaka 70 gyawadde Ssabasajja era namusabira emyaka emirala bufukunya .

Onulabirizi Ndimukika agambye nti Obwakabaka kirabo Katonda kyawa abantu be, okubakumaakuma.
Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere yebazizza Katonda olw’okusuusa Ssaabasajja Kabaka naatuuka ku mazaalibwage ag’emyaka 70 nga mugumu era nga muvumu.

Ssabasuumba aweze okwongera okumuweereza ebbanga lyonna n’obutamutiiririra.
Omulabirizi wa West Buganda owo Mukaaga alindiridde okuwummula Henry Katumba Taamale, negyebuli eno akyalojja ekirabo Ssaabasajja kyeyamuwa mu mwaka gwa 2016 bweyali ajaguza emyaka 61, bweyasiima naalabikako eri Obuganda ku Lutikko e Kako nga 28.8.2016.
Agamba nti Omutanda yasiima naagenda ku Kituuti mu kanisa kweyayogerera, kyagamba nti kyamwewunyisa nnyo era abadde takirabangako.

Omujaguza amazaalibwa ga Nnyinimu age myaka 70, kulimu ebikujjuko ebyenjawulo okuli `Okuggulawo ekizimbe ku Ssomero lya St Peters Ss Bombo Kalule ,Okudduka emisinde gya Mazaalibwa mu Lubiri e Mengo ,Okuggulawo eddwaliro mu Ssaza Ssingo ,Okukwasa abaami ba Masaza Tracker ezirimu,Okusabira Kabaka mu Mizikiti,Okumusabira no kumusabira mu masinzizo
Bisakiddwa: Nakato Jane ne Kato Denis