Okuzaalibwa kw’Omulangira Mutebi kwatandikira mu biseera ebya kazzigizzigi, nga Kabaka Muteesa Fredrick Muteesa II ali mu buwaηaanguse.
“Mu 1954 Kabaka Muteesa yetegula obutiti obwali e Bungereza gyeyali mu buwaηaanguse, neyewogomako mu France. Eyo Omuzaana Sarah Nalule Kisosonkole gyeyamusisinkana ng’ageenze okumulabako ebibala ebyavaayo ye Kabaka wa Buganda owa 36 Ronald Muwenda Mutebi II,eyazaalibwa nga 13 April,1955”
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga abadde mu lutikko e Lubaga mu mikolo gy’amazaalibwa ga Kabaka age 70, naayitayita mu bintu ebyenjawulo Lukomannantawetwa Ssanyulyabuganda Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ebizze bibaawo era ebiwadde Obuganda essuubi n’essanyu okutuuka ku mazaalibwa ge ag’omulundi ogwe 70.
Mu kusaba kuno okukulembeddwamu Ssaabasumba Paul Ssemogerere:
Katikkiro wa Buganda akinogaanyizza nti ; Mu 1966 Obwakabaka bwa Buganda bwagwamu kazzigizzigi omulala, Obwakabaka bwebwawerebwa mu mateeka nebuggyibwawo, naye ssi mu mitima gyaffe.
“Obwakabaka gwe Mubumbirano gw’obuwangwa, ennono,n’empisa zaffe, era Kabaka ke kabonero era ekitikkiro kyebyo byetukkiririzaamu” Katikkiro Charles Peter Mayiga

Katikkiro ayanjudde Emiramwa 4 egisoosowaziddwa mu kukuza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Mutebi II age 70
1 – Okwebaza Katonda okubikka akasubi ku Mutanda, okuyita mu biseera ebyenjawulo, okumuyisa mu biseera ebyenjawulo okuviira ddala mu buzaale bwe, okusomakwe, mu buwaηaanguse, okutuuka ku matikkira ge, okuwayira, okukulaakulanya Obuganda, n’okutuwa essuubi n’essanyu
2- Okusitula eby’obulamu; ng’abantu babeera balamu, saako okuziimba amalwaliro agabbuddwamu Ssekabaka Muteesa II eyalafuubana ennyo okukulaakulanya eby’obulamu.
3- Ebyenjigiriza; kyesigamizibwa ku kiragiro ky’Omuteregga yali mu ssaza Buweekula, n’ategeeza nti eky’obugagga ekisiinga omuzadde kyasobola okuwa omwana we, kwekumuwa ebyenjigiriza ebirungi era eby’omutindo.
Ssekkesa Sseddugge aweeredde abaana , okuyita mu Kabaka Foundation, aziimbye amasomero okuviira ddala ku Nursery okutuuka ku University.
4- Eby’obulimi;Omutanda bweyali ajaguza emyaka 16 ku Nnaamulondo, yatongoza omwaka ogwokukola era yali mu ssaza lye Busujju, Omutanda gyeyasinziira ye kennyini naabyala lumonde. Kaali kanobero akaali kalagira abantu be obukulu b’wokulima, okukola obutaweera n’obuteetundako ttaka.
Mu 2016, Ssebugulubwannyomo yayisa entegeka y’okulima emmwanyi, ekyusizza obulamu bw’abantu.
Katikkiro Charles Peter Mayiga yebazizza olukiiko oluteeseteese amazaalibwa g’Empologoma ag’omulundi ogwe 70, olukulembeddwamu omumyuka owokubiri owa Katikkiro Owek.Robert Waggwa Nsibirwa, n’Omumyuka asooka owa Katikkiro eyakulemberamu emisiinde gy’amazaalibwa Owek. Twaha Kawaase Kigongo n’eyamumyuka Owek Robert Sserwanga Ssalongo.
Katikkiro agambye nti emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka gyabyafaayo, nti kubanga gwe mukolo gw’obuwangwa ogusiinga okwetabwako abantu abangi ate nga bagusasulidde nga bayita mu kugula obujoozi bwebambala nga bagenda okudduka emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka.
Gy’emisinde egisiinga amaanyi ku ssemazinga Africa, ate gikwata ekifo kya 4 munsi yonna.
Mu ngeri yeemu Katikkiro asabye abantu ba Kabaka: nti Twefumiitirize Buganda gyevudde, weeri negyeraga,
nga tukuuma, tunyweza era nga tutaasa Namulondo,okukola ennyo, Obumu,Okukuuma ensalo za Buganda,
n’okulafuubana okufuna enfuga eya Federo.
Maasomoogi atonedde ekelezia oluggi lwa Wankaaki y’ennyumba y’abasasorodooti ezimbibwa ku lutikko e Lubaga, era ekirabo kino akitisse Omulangira David Namugala.
Mu ngeri yeemu Eklezia etonedde Kisiikirize kya Katonda Omuterega Muwenda Mutebi II, ebirabo bya mirundi 3, omuli ekitabo ekitukuvu ekiwandiikiddwa mu lulimi lw’abantu abatawulira, essaala ya Jubileewo ewangiddwa mu kifaananyi eyaweebwayo Paapa Francis I, saako ekifaananyi kya Lutikko ye Lubaga ekiwangiddwa.
Ekitiibwa kya Buganda kiyimbiddwa mu bujjuvu ku mikolo gy’okukuza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II mu lutikko e Lubaga.
Nnabagereka ku lwa Nnaantalinnya mu Kateebe era asiimbye omuti Entaseesa ku lwa Ssaabasajja, ng’aweza emyaka 70 ku lutikko e Lubaga.

Mulyazzaawo Ccuucu Muzaawula Ffumulizannyiramubwengula Sseggwanga Musota asiimye Nnaabagereka Sylivia Nagginda naasala Keeki y’amazaalibwa ge ag’omulundi ogwe 70 era naagabula Obuganda.