Ekitongole kya Ssaabasajja ekya Kabaka Foundation kisse omukago n’ekitongole ky’obwannakyewa ekya Heifer International okuyamba abantu okutumbula eby’obulimi n’obulunzi wamu n’okukuuma obutonde bw’ensi.
Ssenkulu wa Heifer International Uganda William Lubega agambye nti enteekateeka eno baakugikola n’obuvujjirizi okuva mu kitongole ky’obwannakyewa eky’ensi yonna ekya Monte Foundation eky’omu America.
Mu nteekateeka eno abalimi n’abalunzi baakuyambibwa nga baweebwa ente nnusu bulaaya, ensigo z’ebirime ez’omulembe wamu n’ebijimusa ate n’okubafunira obutale.
Bino bituukiddwako mu nsisinkano Amyuka President wa Monte Foundation Heal Hegarty mwakyaliddeko mu Bulange e Mmengo ng’ayaniriziddwa Sipiika w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwaga Mugule ku lwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, ne ba minisita abalala.
Ssenkulu wa Kabaka Foundation Omuk. Edward Kaggwa Ndagala y’atadde omukono ku ndagaano eno ku lw’ekitongole kyakulira, ate Ssenkulu wa Heifer International n’asaako omukono ku lw’ekitongole kyakulembera.
Mu bubaka bwa Katikkiro obusomeddwa Sipiika Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, yeebazizza nnyo aba Monte Foundation ne Heifer International olw’okusalawo okukolagana n’Obwakabaka n’asuubiza enkolagana etaliimu vvuunya.
Omumyuka wa President wa Monte Foundation Heal Hegarty agambye nti ng’ekitongole baakukolagana ne Buganda bulungi nnyo okukakasa ng’abantu ba Kabaka bakyusa obulamu bwabwe.
Enkolagana eno yakumala emyaka esatu, nga yaakuzzibwa obuggya oluvannyuma lw’ebbanga eryo ssinga biba bitambudde bulungi.
Ssenkulu wa Kabaka Foundation Omuk. Edward Kaggwa Ndagala agambye nti Kabaka Foundation yakutuuka ku buli ssaza okukolako ffaamu ey’ekyokulabirako (demonstration farm) n’okusomesa abantu ba Kabaka ennima ey’omulembe.
Agambye nti baakugabira abantu ba Kabaka abeeteeseteese obulungi ente nnusu bulaaya, n’ebyuma ebisunda amasannyalaze g’amaanyi g’enjuba mu kaweefube w’okukyuasa obulamu bwabwe.
Endagaano eno essiddwako emikono mu maaso ga Ssaabawabuzi wa Buganda Owek. Christopher Bwanika.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K