Obwakabaka bwa Buganda bwanjudde bannamikago abaggya abegasse ku ntegeka yókuvujjirira emisinde gyámazaalibwa ga Kabaka aga 68.
Abavujjirizi abaggya kulikoSWICO, I and M Bank, Novana water, abegasse ku Airtel Uganda, Uganda Aids Commission, Vision Group, CBS FM ne BBS Terefayina.
Katikkiro asisinkanye kampuni n’ebitongole ebivujjiridde emisinde gy’amazaalibwa ga Ssabasajja ku mukolo ogubadde mu Bulange e Mengo nategeeza nti okulwaanyisa Mukenenya ssi mulimu gwa Bwakabaka bwokka, wabula n’abantu kinnoomu wamu n’amakolero.
Katikkiro asabye abaami obutasuula buvunaanyizibwa bwabwe mu kulwanyisa Mukenenya, nga beekebeza buli kiseera.
Ssentebe w’olukiiko olutegesi lw’emisinde gy’amazaalibwa ga Beene era omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda Owek Dr Twaha Kawaase Kigongo, akunze abantu ba Kabaka okugula emijoozi nga teginaggwayo.
Ssentebe wa boodi y’ekitongole ekirwaanyisa Mukenenya ki Uganda Aids Commission Eddie Mukoyo agambye nti newankubadde Mukenenya mu Bwakabaka agenze akendeera, wabula akyali mungi mu bizinga.
Ronald Jagwe nga ye kitunzi wa kampuni ya yinsuwa eya State Wide Insurance Company egenda okukolagana ne kampuni ya yinsuwa ey’Obwakabaka eya Werinde , beeyamye okujjanjaba abantu ba Kabaka bonna abanaafunira obuzibu mu misinde gino.
Bisakiddwa: Kato Denis