Akalulu kano kaakubiddwa nga 22 January,2026, ng’abantu 3 bebaabadde bavuganya ku kifo kino.
Munna NRM Eng. Ian Kyeyune afunye obululu 177,710, Najja Nasif owa NUP afunye 99,235 ate Nakafeero Flavia owa DF afunye 10,597.
Embeera etabuse, Najja bwagezezaako okugaana Musinguzi okukwasa ebbaluwa eyobuwangizi eri Ian Kyeyune, ng’agamba nti obuwanguzi bubadde bubwe.
Era police emuggyewo na lyanyi.
Ebyo nga bikyali awo kwo okubala obululu bwa bakansala nakwo kukomekerezeddwa wakati mu miranga banzibye banzibye yali ku mimwa, nga nabamu batuuse okuzirikira mu kifo awabalirwa obululu, nebatuuka okutwalibwa mu ddwaliro nga tebamanyi bifa kunsi.
District ye Wakiso yakubeera ne bakansala 103.
Bisakiddwa: Kawuma Masembe