Essomero lya St Kennedy Streams of Life Choir, bebakuyimbira ‘Oluyimba Lukusuuta’, bawangudde eky’omuyumbi n’o luyimba lw’omwaka 2024 (Artist and Song of the year).
Omuyimbi Acidic Mavoko eyayimba Ndi Musoga ne It’s Okay, yalangiriddwa ku muyimbi omusajja asinze mu mwaka 2024, ate Queen Sheebah ye muyimbi omukyala asinze banne abakazi mu mwaka guno.
Oluyimbi olumanyiddwa Enkudi olwa Lillie Pazo, lweruyimba olusinze okucaaka ennyo omwaka guno, ssonga Video y’oluyimba, ‘Forever’ olwa Uncle Ronnie ne Spice Diana ye video esinze omwaka guno.
Omuyimbi munna Uganda awangaalira e Bungereza, Joshua Barak, awangudde engule bbiri okuli ey’oluyimba olusinze mu East Africa olumanyiddwa nga “Dalira”, era ye muyimbi asinze mu mawanga ga East Africa.

Omuyimbi weenyimba z’okutontoma oba Hip-pop, amayiddwa nga Navio Kigozi, ye muyimbi asinze mu Africa yonna, ate oluyimba lwa Komasava Remix, olwayimbibwa Khalil Harissinn, Chley, ne Diamond Platinum owe Tanzania lwe luyimba olusinze mu Africa yonna.
Engule za Hipipo Awards, ezavujjiriddwa Kampuni ez’enjawulo omubadde ne Radio CBS, zigabiddwa ku mukolo oguyindidde ku Serena hotel mu Kampala.
Ssenkulu wenteekateeka ya Hipipo Awards, Innocent Kawooya, agambye nti guno gubadde mulundi gwa 13 nga bageka engule zino, era ziyambyeko bannabitone bangi okwezuula n’okugenda mu maaso.#