Guweze omwaka omulamba bukyanga abaana abawala abaliko obulemu bw’obutalaba 12 bafiira mu muliro ogwakwata ekisulo ky’essomero lya Salaama School for the Blind, erisangibwa ku kyalo Luga mu Ntenjeru-Kisoga Town Council mu district eye Mukono.
Mu kiro ky’ennaku z’omwezi 24 October,2022 eggwanga lyabuutikirwa ekikangibwa eky’omuliro ogutanaba kutegeerekeka kwegwava ogwakwata ekisulo ky’abaana abawala abasoba mu 25 ku ssomero lino elya Salaama School for the Blind, 12 nebafiirawo ate abalala nebasimattuka.
Wabutuukidde olwaleero ng’abazira-kisa bazze badduukirira essomero lino n’okuzimba ekisulo ekirala, okuteeka Kkamera enkessi mu ssomero, n’ebirala.
Abaddukanya essomero lino okuli Dorothy Ssebadduka omukulu w’essomero n’omumyukawe Tumusiime Lawrence bagamba nti newankubadde bino bikoleddwa naye bakyetaaga Bbugwe ku ssomero n’abakuumi abalina obukuggu okusobola okutangira abantu abakyamu ate okuddamu okuyingira mu ssomero nebatuusa obulabe ku bayizi.
Omukulu w’essomero lino Mukyala Dorothy Ssebadduka agamba basazeewo okujjukira olunaku luno nga basabira emyooyo gy’abaana 12 abafiira mu muliro, wamu n’okuggulawo ekisulo ky’abaana abawala ekipya ekizimbiddwa abazira-kisa aba MTN.#