Government ya Uganda emaliridde okuddamu okuwozesa abantu ba bulijjo mu Kkooti z’amagye, olukiiko lwa baminister bwe luyisiza enongosereeza mu tteeka erikwata ku kkooti yámagye, era ebbago likomezeddwawo mu parliament liteesebweko eriyise.
Gyebuvuddeko kkooti ensukulumu yayimiriza Court Martial obutaddamu kuwozesa bantu ba bulijjo, ng’egamba nti abalamuzi abatuula mu Kkooti eyo sibakugu mu byámateeka.
Kino kyawalirizza akabondo Ka NRM mu parliament okutuula bunnambiro okuteesa ku nsonga eno, era ebiteeso byonna byayisiddwa olukiiko lwa ba minister bulambalamba.
Minister w’amawulire n`okuluηηamya eggwanga Dr. Chris Baryomunsi asinzidde ku media Centre mu Kampala, nátegeeza nti olukiiko lwa baminister nga terwekutuddemu, lwazemu neruyisa ebbago eriwa kkooti y’amagye obuyinza okuwozesa abantu ba bulijjo.
Dr. Chris Baryomunsi agambye nti ezimu ku nnongosereeza zebatadde mu bbago lino zituukana bulungi n’okuwabula kwa Kkooti ensukulumu, nga kaakano beetaaga bannamagye abasomye amateeka okutuula ku kkooti eyo.
Bwábuuziddwa ekya government okulemerako okuwozesa abantu ba buligyo mu Kkooti y’amagye, mu kwanukula Minister Baryomunsi agambye nti mu ggwanga lino mulimu abantu ab’amawaggali nga kkooti eno yokka yébasobola.
Bino webijidde nga bannauganda bangi abaali bawozesebwa mu Kkooti y’amagye babadde tebannayimbulwa, era ng`obudde bwona bandizzibwayo mu Kkooti eno singa parliament eyisa ennongoosereza ezo.
Abamu ku bantu bano abakyakumirwa mu makomera agenjawulo kuliko Retired Col. Dr. Kiiza Besigye, Hajji Obed Lutale, abawagizi bekibiina kya NUP abakwatibwa ku misango egy’enjawulo egyetoloolera ku byóbufuzi n’abalala.
Bisakiddwa: Musisi John