Abakulu mu kitongole ekivunaanyizibwa okugaba Passport mu ggwanga bayimirizza okugaba Passport okumala ennaku bbiri olwaleero n’enkya, okubasobozesa okutereeza ebyuma byabwe bituukane n’omutindo omudigito.
Commissioner wa Citizenship and Passport Control, Brig. Gen Johnson Namanya agambye nti omulembe guno, buli kintu naddala ekikwatagana n’ebiwandiiko ebikulu bisaana era byetaaga okuba nga birina obukuumi obw’enkizo, okwerinda abacupuzi.
Brig.Namanya asuubizza nti okutandika nga 22 January bajjakuba bamalirizza okutereeza byonna, era abalina okufuna Passport zabwe bajja kuziweebwa.
Office eziyimirizza mu mirimu kuliko, Ekitebe ekikulu mu Kampala, Kyambogo, Mbarara, Mbale ne Ggulu.
Ate n’ebyebweru w’eggwanga okuli Washington mu America, London mu Bungereza, Otawa, Copenhagen, South Africa ne Abudabi mu United Arab Emirates nabyo biyimirizza okugaba ebitambulisho.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K