Government ng’eyita mu Parliament eggye ebitongole byobwannakyewa n’amasinziizo okuli ekereziya ne kanisa ku lukalalala lw’ebitongole government byebadde erondoola nti biyinza okuyambako mu muze gw’okukusa ensimbi okuvugirira ebikolwa ebyekittujju mu Uganda.
Government ng’eyita mu tteeka lya Anti Money Laundering Act yali yassa amasinzizo ku bifo ebiyinza okuyitibwamu okukusa ensimbi.
Wabula ministry y’ebyensimbi eyanjulidde parliament ekiteeso ekiggya ebitongole by’obwannakyewa n’amasinzizo ku lukalala olwo.
Okusinziira ku tteeka eryo erya Anti Money Laundering Act, amakanisa,amakeleziya saako ebitongole by’obwannakyeewa bibadde bikwaatibwako okutwala kalonda akwata ku ngeri gyebifunamu ensimbi n’ensaasaanya yaazo, eri ekitongole ky’eggwanga ekirwanyisa okukusa ensimbi ki Financial Intelligence Authority of Uganda buli mwaka.
Kino kikolebwa n’ekigendererwa ekyokulwanyisa okukusa ensimbi ezivugirira ebikolwa ebyekittujju.
Minister omubeezi ow’ebyensimbi Henry Musaasizi abuulidde parliament nti oluvannyuma lwa Uganda okugyibwa ku lukalala lw’ensi ezaali zoolekedde okussibwako ekkoligo olw’okulemererwa okutuukiriza obukwakkulizo bwokulwanyisa ebikolwa by’okukukusa ensimbi, ekitongole kyensi yonna ekirwanyisa okukukusa ensimbi ki The Financial Action Task Force kyaalagira Uganda okuggya amakeleziya, amakanisa n’ebitongole byobwannakyewa ku lukalala lwebitongole ebibadde bissibwako nnyo eriiso ejjjogi.
Ebitongole byobwannakyeewa emyaka mingi bibadde byesanga mu kusoomozebwa olwa government okussa envumbo ku account zaabyo n’ebimu okubiggalawo, olwokulemererwa okutuukiriza obukwakkulizo buno obuli mu tteeka lya Anti money Laundering Act.#